Okuteekateka obulungi ennimiro kikulu nnyo mukulima obutunda, kino kirina okukolebwa omweezi kumu oba ebiri nga tonasiimba butunda okusobozesa ettaka okuyisa obulungi empewo wamu n‘omusana okwaaka obulungi ku ttaka lino okusobozese okuta obuwuka bw‘omuttaka obuleeta endwadde.
Ekirala siimba obutunda mu nyiriri nga weyambisa obutimba oba obuguwa. Kalimbwe wamugaso nnyo mukulima obutunda kubanga ono awa mangu obutunda ebirungo byonna ebyetagisa mukukula obulungi wabula kalimbwe alina okuba nga atabikiddwa bulungi muttaka okusobozesa ekimera okula obulungi. Ekirala kakasa nga obutunda busimbiddwa bulungi mu nyiriri kikusobozese okubulabirira obulungi.
Ennima y‘obutunda
Tandika n‘akusambula oluvannyuma okabale ettaka wamu n‘okukuba amafunfugu. Londa omuddo muttaka erikabaliddwa, kino kiyamba okujamu obuwuka obutataganya enkula y‘obutunda muttaka.
Ebyo nga biwedde sseteeza ettaka era oyongere okulonda omuddo oguyinza okuba nga gukuuma obuwuka obutataganya enkula y‘obutunda. Ekirala sima ebinya nga biwaanvu mu bugazi bwa mita 3 ku mita 2 kisobozese obutunda okuta obulungi.
Kakasa nga ebinya ebisimiddwa biwanvu bulungi era nga bisobola okutekebwamu ebigimusa byonna ebinayamba akatunda okula obulungi. Mubuli kinnya teekamu kilo 1 ey‘ekigimusa ky‘ekirungo kya nitrogen oluvannyuma otekemu n‘ebigimusa ebya nakavundira okusobozesa obutunda okula obulungi.
Bwooba okozeseza ebigimusa bya nakavundira mukusiimba obutunda saamu wakati wa kilo 10 ku kilo 20 mubuli kinya era sooka olinde ebigimusa bino bivvunde bulungi olwo olyooke osimbe mu ekikolo ky‘obutunda, kibo kiyamba ku mirandira okula obulungi.
Ekisembayo bwoba ogenda okusimba nga nakavundira tanavunda bulungi simba ekikolo kyakatunda ssentimita taano (5cm) okuva kukigimusa okwewala ekikolo ky‘akatunda obutavunda wamu n‘obutalumbibwa buwuka.