»Emmerusizo y‘ensigo y‘omuceere«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/rice-seedbed

Ebbanga: 

00:17:49

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Africa Rice, Agro-insight, IER, Intercoopertion, Jekassy
»Mukatambi kano osobola okuyiga bwebateekateeka emmerusizo ennungi evaamu ensigo engumu kiwe omuceere okutandika namanyi. Katulabe mutendera ku mutendera. Kano akatambi kitundu kya Rice Advice DVD«

Bw‘omansa ensigo y‘omuceere, ensigo ezisinga zonooneka. Okutaasa kino osaana okole emmerusizo oluvannyuma osimbulize.

Abalimi batera okumansa ensigo ng‘enkuba tennatinnya naye enkuba bwetonnya ensigo zizikibwa olwo ate omulimi nasiga buto.

Okusimbuliza

Okusimbuliza kukekkereza ensigo, amazzi n‘ebiriisa. BWOsimbuliza osobola okusimba endokwa entuufu. Bwosimbuliza omuceere oba oguwadde omukisa okulwanyisa bulungi omuddo.

Okukola emmerusizo

Ebirime tebiyina kusussa bikoola bina nga tebinasimbulizibwa. Liraanya emmerusizo ku mazzi, awali omusana ate ngeriraanye ennimiro. Kakasa nti teriraanye nsolo. Tokozesa musenyu kuba gukala mangu. Engeri amazzi gyegava kunsozi nga gakka mu kisenyi kakasa nti ekitundu ekiwanvu eky‘emmerusizo kitunudde mu lusozi.

Kola emmerusizo mita emu obugazi ne mita kumi obuwanvu. Sayizi eno nnyangu okukoleramu. Giteeketeke bulungi ogiseteeze mukoka aleme kuyingira munsigo. Mulungula ebifunfugu n‘ebigimusa ensigo zisobole okumera obulungi nga zisimye emirandira. Emmerusizo ey‘obuwanvu bwa mita 10 esobozesa amazzi okukka mpola muttaka. Mubitundu webafukirira lekamu emifuleje kisobozese okufukirira ebimera obulungi.

Emmerusizo erya mita kumi, wetaaga kiro bbiri ez‘ensigo. Emmerusizo eno esobola okusimba ennimiro ya sikweyamita mita 500. Nyika ensigo ez‘okumerusaokumala olunaku ngozisibye mulugoye. Jjamu ensigo ozisse mukifo wezisobola okufunira empewo okumala ennaku bbiri okutuusa lwezimera.

Tabula ensigo n‘ettaka osobole ozikuuma eri ebinyonyi bwomala era tabula olubatu lwobusa muttaka lino. Bikka ettaka nebisusunku osobole okuuma ensigo nga ziri mubunnyogovu wamu n‘okuzitangira eri ebinyonyi. Jjako ebisusunku oluvannyuma lw‘enaku satu ku nya. Weeyambise amatabi g‘emiti ozimbe akayumba mita emu n‘ekitundu obuwanvu okuva ku ttaka. Tekako ebisansa ate ogifukirire buli lunaku oluvannyuma lwa wiiki emmerusizo ejja kuba egumye olw ojjeko akayumba.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:23Ennyanjula
00:4101:56Abalimi bamansa ensigo ng‘ensigo tennatandika.
01:5702:17Bwomansa ensigo y‘omuceere, ensigo ezisinga zononeka.
02:1802:43Olw‘okusimbuliza osobola okufuna endokwa ennungi.
02:4404:18Kola emmerusizo wiiki bbiri nga tonnasimbuliza.
04:1904:56Emmerusizo giriraanye amazzi, mu musana ate ng‘eriraanye ennimiro yo.
04:5705:14Wewale ettaka ly‘omusenyu kuba likala mangu.
05:1505:48Kola emmerusizo mita emu obugazi ne mita kumi obuwanvu.
05:4906:41Weeyambise ensigo ez‘omutindo.
06:4207:06Nyika ensigo mulugoye ozisse mu kkutiya ey‘obugoogwa okumala olunaku lumu.
07:0709:22Ebirime ebivudde mu mmerusizo bisobola okusimba ennimiro ya sikweya mita 500.
09:2309:58Teekteeka oseeteeze emmerusizo mukoka aleme kutwala nsigo.
09:5910:23Mementula amafunfugu n‘enakavundira ensigo z‘omuceere zisobole okutambuza bulungi emirandira olw‘ekirime kikule nga kigumu.
10:2410:32Kuuma ensigo n‘ettaka.
10:3310:39Olubatu lw‘obusa bw‘ente bugimusa ettaka ate bugoba nebinnyonyi.
10:4010:55Kozesa amatabi g‘emiti okuzimba akayumba kummerusizo eya mita emu n‘ekitundu waggulu w‘emmerusizo.
10:5611:04Ffukirira buli lunaku emmerusizo.
11:0511:41Mukiwonvu (ekisenyi) oyina okukola emmerusizo yo ng‘oludda oluwanvu luli kukaserengeto.
11:4211:59Bika ettaka n‘ebisusunku okukuuma ettaka ngo linnyogovu n‘okutangira ebinyonyi.
12:0013:00Mubitundu ebifukirirwa emmerusizo eyina okuba nga yenkanankana ate okugire ettaka n‘emikutu okusobozesa okufukirirwa.
13:0916:45Okufundikira
16:4617:49Okusiima

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *