»Emmwanyi: Okunoga & Okukaza«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/coffee-picking-drying

Ebbanga: 

00:09:44

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Countrywise Communication
»Omutindo omulungi ogw‘emmwangi tegugwa bugwi- waliwo emitendera mingi egitunulirwa nga edabirira y‘enimiro ela emitendera jona jirina okolebwa obulungi okusobozesa okufunamu amagooba mubulimi bw‘emmwanyi.Akatambi kano katunulira emitendela ebiiri, ogusooka engeri y‘okunoga emmwanyi munimiro, n‘ekyokubiiri engeri y‘okumamu omutindo gw‘emmwanyi okufuna amaggoba amangi nga oyitta mukukaza n‘okutereka emmwanyi obulungi.«

Endabirira y‘enimiro ennungi eleeta amagooba mangi. Enkaza enungi ey‘emmwanyi n‘entereeka by‘ankizo okusoboola okukuma omutindo no‘kufuna amagooba mangi okuva mu mmwanyi.

Emitendela emitufu ejokulabirira mu emmwaanyi jankizo ela jongela okufuna kw‘emmwanyi.Okunooga, enkwatta ennungi n‘entereka bisalawo nnyo kunyingiza okuva mu mmwanyi.

Okunoga emmwanyi

Noga emmwanyi emyufu zooka lwakiri omulundi gumu buli wiiki. Wewale okuwulula kw‘mmwanyi kubanga kivirako okunoga emmwanyi ezikyali entto/ezitanayengela. Okunuubula obutabi kyanguyizako obulwadde okwata mangu emmwanyi.Nate ela tolinda nnyo mmwanyi kwengela nnyo kubanda nakino kyandisula omutindo gw‘emmwanyi. Nnoga emmwanyi zoona kunkomerelo ya siizoni kubanga kino kitangiraokusasana kw‘obuwuka n‘endwadde z‘emmwanyi. Nga okungula weyambise obuddeya / emikebe emiyinjo.

Okukaza emmwanyi

Kaliza ku tundubaali oba ku kiveera obwa pulasitiika kubanga okukaliza ku tta ely‘elele kikoosa omutindo ate ela emmwanyi okufuna obukuku.Yanjala emmwanyi ela sigala nga oyisamu rake kisobozese emmmwanyi okukala kyekimu.Kuma emmwanyi nga nkalu ela ng‘oziyingiza munju/ sitoowa buli lw‘olaba nga ennkuba nga ebindabinda. Osobola n‘okuzizingira mutundubaali nga enkuba etandisse okutonnya. Kaza emmwanyi okumala enaku 5-6 okukuma omutindo ela kebeera okukalu bwazo nga w‘eyambisa ekyuma ekiyitibwa moisture metre, Okuziluma, okubwatuka nga zilumiddwa mu. Bulijjo kumira emmwanyi mu kutiya ennyonjo, ku mbawo nga tezitudde ku ttaka, ate ela mukifo ekiyiisa empeewo obulungi okwewala okusiika obunyogovu.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:46Emmwanyi ezirabiriddwa obulungi zitumbula enfuna mumakungula.
00:4701:09Okunoga emmwanyi,enkwatta y‘emmanyi n‘entereka.
01:1002:46Nnoga emmwanyi emyufu zooka. Wewale okuwulula emmwanyi
02:4703:59Wewale emmwanyi okwengera ennyo. Kungula emmwanyi zona kunkomerelo ya siizooni.
04:0004:16Weyambise obukutiya/ obuveera oba emikebe ebiyonjo nga okungula.
04:1704:50Emitendera j‘okukazamu emmwanyi.
04:5105:51Kaliza ku matundubaali oba ku kaveeraka plasitika.
05:5206:05Yanjala emmwanyi ela sigala nga oyisamu rake
06:0606:56Kuma emmwanyi nga nkalu. Wrap coffee cherries during rain.Osobola n‘okuzizingira mutundubaali nga enkuba etandisse
06:5707:48Kaza emmwanyi okumala enaku 5 - 8. Kebeera obukalu bw‘emmwanyi.
07:4908:25Bulijjo kumira emmwanyi mu kutiya ennyonjo,ela mukifo ekiyiisa empeewo
08:2608:39Kakasa nti ekutiya omuli emmwanyi tezitudde ku ttaka ela nga tezesigamwe kukisenge.
08:4009:44Mubufunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *