»Empagi musanvu ez’okufuna mu kulima enva endiirwa«
Kyangu okulima enva endiirwa mu mwaka gwonna kasita ogoberera empagi ezimu. Ne mu ddungu, kisoboka okulima enva endiirwa era ebiyamba mu kulima enva endiirwa mu ddungu mulimu; omusana omungi ogubeeramu kyenkana buli lunaku, obusobozi bw’okulima mu mwaka gwonna wamu n’okubeerawo kw’enva endiirwa ennyangu z’okulima.
Ebisinziirwako mu kulima
Ekifo; Londa ekifo ekituufu kubanga ennimiro z’enva endiirwa zeetaaga omusana okwakira waakiri essaawa mukaaga buli lunaku. Kakasa nti okumpi awo waliwo awaggibwa amazzi okukola nga ensibuko y’amazzi ag”okufukirira.
Teeka omutima ku ttaka lyo. Kakasa nti ettaka lyo lisaanidde okulimwako enva endiirwa. Bw’oosa omulaka ku mpagi z’okulabirira ettaka mu nkola ey’obutonde, omutindo gw’ettaka lyo gujja kweyongera mwaka ku mwaka. Era bulijjo kebera ettaka lyo okumanya ettaka we liyimiridde mu biriisa.
Simba enva endiirwa mu budde obutuufu nga embeera y’obudde esaanidde mu kumera kw’ebirime era simba ebika ebimanyidde embeera y’obudde eyoomukitundu ekyo.
Bulijjo fukirira ebirime byo naye toyitiriza kufukirira era amazzi gafukirira ku ttaka so si ku mirandira. Kino kiyamba okukekkereza amazzi era kiziyiza endwadde.
Bikka ennimiro yo okuyambako okutaasa emirandira ebbugumu erisukkiridde, n’okukuuma obuweweevu.
Okusoomooza okuli mu kulimira mu ddungu
Okubeerawo kw’ebbugumu erisukiridde okumala emyezi emingi mu mwaka so nga waliyo enva endiirwa ntono nnyo eziyinza okugumira ebbugumu eriyitiridde.
Amazzi amatono mu mpewo. Ebimera ebyamanyiira eddungu okugeza nga ekimera ekiyitibwa cacti, bisobola okukulira mu ddungu awali amazzi aamatono mu mpewo, so nga enva endiirwa nnyingi zikula bulungi nga waliwo amazzi amzngiko mu mpewo.
Ettaka erisinga ery’eddungu teririnaamu lunnyo wadde era lirina ebigimusa bitono ebiva mu by’obutonde, naye ate enva endiirwa ezisinga zeetaaga ettaka nga lirimu olunnyo olutonotono eririna ebigimusa ebingiko ebiva mu by’obutonde.