Okutandika okulunda enkoko okw’amagoba kyangu era kyetagisa mitendera myangu, kirungi okumanyanga sente ezirina okutekebwamu okwewala okusasanya ennyo pkusobola okufuna amagoba amangiko. Kakasanga nti okendeeza sente zotekamu mu kuliisa kuba zikola ebintu 70 ku 100 mu kulunda enkoko. Okwongerako, wewale endwadde era enkoko oziwe emere eyomutindo. Era webuuze ku basawo b’ebisolo singa wabawo obulwadde obubalukawo okwewala okufirwa.
Okulunda okw’amagoba
Tandika n’akumanya kika kya lulyo lw’enkoko lwoyagala okulunda olwo okole okunonyereza ku katale eri ebiva mu bulunzi bw’enkoko. Era, tegeera obukodyo obwetagisa mu kulunda enkoko era okunganye amagezi weyongereko. Era wewale okusasanya enyo era ogule obukoko obw’omutindo omulungi okuva eri abesigika. Okwongerako kendeeza ku sente z’emere era ofune abakozi abo boka abetagiisa. Okugattako, gatako omutindo ku biva mu kulunda enkoko nga oyonja amaggi, wamu nokubaaga enkoko okusobola okufuna amagoba amangi. Ekisembayo, webuzenga ku balunzi abatutumufu mu nkoko wamu nabasawo b’ebisolo.