Ebijanjaalo birimwa nnyo olwe migaaso ejekusa ku by‘obulamu ate era byatunzi nnyo okwetoloola ensi. Nate era webituddwa byongera kunfuna yabalimi.
Wabula, abalimi bangi bafuna amakungula matoono nga kiva ku ndabirira y‘ekirime embi, okukendela kwo bugimu bw‘ettaka, okwetangira okutatukiridde okwebitonde ebyonoona ebirime wamu n‘endwadde era nensigo ezomutindo omutono. N‘olwekyo, okukakasa kwamakungula amalungi,waliwo emitendela ejirina okwekenenyezebwa.
Ennima y‘ebijanjaalo
Tandiika nakulonda ekifo nga kirina ettaka egimu wabula wewale okusiga mukifo kyentobazzi oba ku ttaka ely‘olusenyu.lima nga weyambisa enkola ekyusa ebirime ebisimbibwa mu buli sizoni okuziyiza okuwela kw‘ebitonde ebyonoona ebirime n‘endwadde mu nnimiro.
Bulijjo simba ensigo ezakakasibwa,tosimba nsigo kuva kumakungula agewaza emirundi 3 kubanga ensigo embi evirako amakungula amabbi nate era tegeeka ennimiro wiiki 2-3 nga enkuba tenatandiika tonnya. Lima oba kabala ennimiro emirundi ebbiri okugonza ettaka.
Okwongelako, simba ensigo 2 mu buli kinnya nga enkubba yakatandika okutonnya, leeka amabanga ga 45cm wakati mu nnyiriri, namabaga ga 20cm wakati wekikolo ku kikolo. Bwoba w‘eyambisizza ente ezirima leeka amabanga ga 60cm wakati munyiriri era 15cm wakati w‘ebikolo. Tabika ennimiro n‘ebirime ebigatta ekirungo kya nitrogen mu ttaka okusobozessaebirime okuganyilwa mu kirungo kya nitrogen ekigattibwa mu ttaka.
Kakasa nti oteeka ebigimusa mu bipiimo ebikakasibwa okutumbula enkula y‘ebirime neera ziyiza omuddo mu budde okusobola okutumbula amakungula. Wabula wewale okukoola nga ebirime bitusisa okumulisa.
Mukusembayo, kungula ebijanjaalo nga tebineyasa okuziyaza okufirizibwa. Nate era mukungula yawula okungula ebijanjaalo ebikalu n‘ebibiisi.
Ebikolebwa oluvannyuma lw‘amakungula
Tandiika nakuba ebijanjaalo mukifo ekiyonjo, jamu ebisaniko era owewe ebijanjaalo okujamu kakyikya, londa ebijanjaalo okwawula ebifu mu bilamu nga okozessa engalo era wewale okutabiika ebijanjalo nga bya mbala zanjawuulo.
Era sengeka ebijanjaalo nga okusinzira ku langi, obumenyefu, obukyafu, okunoneka okuva ku biwuuka, akawoowo/ olusu.
Okwongerezzako, kuma ebijanjaalo nga okozessa eddagala elyakirizibwa era oteereke ensigo mu kifo ekikalu nga kiyonjo okwewaza ebijanjaalo okulumbibwa ebiwuuka byo mu teerekelo.
Mukufundikira, kuma ebijanjaalo mu mbeera ennungi nga biiri mu teerekelo era weyambise enkola eyitibwa(first in first out policy)ekitegezza nti bwoba ojjamu ebijanjaalo mu teerekelo tandika nebyasooka mu teerekelo.