Ebinazi biyina obw’etaavu bungi munsi yonna era nga bisobola okukozesebwa mungeri ez’enjawulo nga emere, mumakolero gengoye, era neby’okwewunda era nendabirira y’emiti gy’ebinazi esobola okutwaalibwa.
Mukugattako, okumanyiira engeri z’okulabirira ky’ongera kumakungula g’ebinazi. Mukw’eyongerayo, ebijimusa nabyo by’ongera kumakungula, naye ate bino busaanye bikozesebwe mubiseera by’ankuba naye si nga enkuba nyingi.
Endabirira
Buli luvanyuma lwamyeezi 2 longoosa era otukuze omw’etoloolo kumuti gw’ebinazi nga ojawo omuddo n’ebisiko okusobola okukendeeza kukufirizibwa mukukungula n’oluvanyuma lw’amakungula. Mukugattako, salira omuti gw’ebinazi nga amakungula amangi teganabaawo oba nga gawedde nga otemako amatabi agateetagisa, kino kiyamba okw’anguya okukungula, siky’abuseere era kiziyiza okufirwa ebirime.
Mukw’eyongerayo, panga ebikoola by’amatabi g’ebinazi agavunda okw’etoloola omuti okukw’ongera kubiriisa mu ttaka wamu n’okutangira okuluguka kwettaka era kino kikuuma amazzi. Nate era, buli luvanyuma lwa myeezi 2-3 teekawo emikutu mu nimiro y’ebinazi nemumassekati g’emiti gy’ebinazi okusobola okwanguyirwa okuytuuka mu nimiro, okukungula, okulabirira enimiro wamu n’okuteekamu ebigimusa.
Bulijo kakasa nti weyambisa enkola y’okusalira eyitibwa box frond stacking okw’ongera kubiriisa mu ttaka era n’okutangiramu okukuluguka kwettaka era n’ekisembayo, kozesa ebijimusa nga obuteeka mu mwetoloolo omuyoinjo ogutereddwaawo okw’etoloola omuti okusobozesa omuti okukula obulungi.