Ekirime kya okra kirimibwa nnyo. Kyagala nnyo ebbugumu ateera kiggumira ekyeya. Naye okukifuukirira ekitono n’omuddo ogwonoona ebirime kivirako okufuna amakungula amatono.
Obulimi bw’ekirime kya okra
Kozesa ensigo ezisinga okusobola ku makungula. Ku ttaka ly’olusenyusenyu, fuukirira emirundi essatu mu nnaku 10 ezisooka oluvanyuma lw’okusiga mu biseera naddala eby’ebbugumu oba eby’ekyeya ennyo ebikoola biwotoka. Okuva ku lunaku olw’ekkumi paka ku lwabiri, fuukirira ebirime emirundi ebiri mu lunaku. Nga wayiseewo wiiki 3. fuukirira omulundi gumu olunaku.
Ggyamu omuddo ogwonoona ebirime singa guba gukuze nnyo, mu wiiki ssatu oluvanyuma lw’okusimba. Teekako ettaka ku nduli y’ekirime emirandira gyongere okugguma. Gattako nakavundira, ekigimusa oba obusa okuva mu balunzi b’ebinnyonyi. Kino kyongera ku bugimu bw’ettaka.