Obubuzi obuto n‘embuzi ezirina eggwako zirina okuweebwa endabirira ey‘enjawulo n‘okuzifaako mu bulunzi bw‘embuzi.
Enteekateeka ey‘obutonde tebeeramu kukozesa busimu bwa mubiri obukolerere naye ennume eggibwa mu kisibo okumala emyezi esatu. Enkazi zibeera zisala naye nga tezirinnyirwa, era ennume bw‘ereetebwa, enkazi nnyingi zijja kusala era zirinnyirwe mu kaseera akagere.
Embuzi eziri eggwako
Embuzi bwe ziba ziri kumpi okuzaala, zaawule ku mbuzi endala mu kisibo era ozikuumire mu kayumba kaazo zokka.
Embuzi eziri eggwako ziwe eby‘okulya nga obyongereza ku muddo gwe zirya ku ttale okuzisobozesa okuzaala obwana obulamu obulungi era obw‘amaanyi.
Okufa ku bubuzi obuto
Mu nteekateeka ey‘obutonde, okuwaka kumala emyezi esatu n‘okuzaala nakwo kumala emyezi esatu. Kino kiyamba okubeera n‘embuzi eziwerako ezikulira okumu era kino kikifuula kyangu okufa ku bubuzi obuto.
Embuzi ezizaala ogusooka zibeera n‘okutya okw‘okuyonsa. Singa kino kibeerawo, embuzi gikwate okakase nti obubuzi obuto buyonka okutuusa embuzi lw‘emanyiira okuyonkebwa oluvannyuma lw‘akaseera.
Amata g‘ente gasobola okukozesebwa ng‘ekyongerezebwa ku mmere ku bubuzi obuto obutafuna mata gamala okuva ku bamaama baabwo. Kino kiyamba okubeera n‘okukula okutuufu okw‘ensolo.
Obubuzi bwe bukula ne buweza emyezi ng‘esatu, buteeke mu kayumba k‘obubuzi obuto.