Endabirira y’emmotoka ezirima n’enkozesa yaazo Ekitundu 2

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=rbcJJAompY0

Ebbanga: 

00:04:51

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

CEAT Speciality Tires USA
Okulabirira emipiira gyo leero kikuyamba mu dda. Okulabirira obulungi emipiira n'enkozesa kya nkizo mu kukuuma enteekateeka zo nga zigenda mu maaso.

Olw’okuba ebyeyambisibwa n’ebikozesebwa ebyanguya emirimu, embeera y’emipiira esinziirwako okumanya obudde bw’okumaliramu emirimu, omutindo gw’emirimu n’okukola kw’emmotoka okulungi ku mulimu ogukolebwa.

Ng’okebera emmotoka erima, kebera emipiira n’empanka nga tonnakola era okukebera kulina okukolebwa nga tonnatandika kukola n’oluvannyuma lw’okukola era ebikozesebwa biteeke wansi oluvannyuma lw’okubikozesa. Kozesa ekitabo ekiraga enkozesa y’emmotoka ku nteekateeka ezongerwako n’enkola.
Enkwata y’emmotoka ezirima
Ekisooka, saba okuwabulwa okuva ewa kitunzi w’emmotoka ezirima singa wabaawo ekitegeerekeka era keberanga amafuta buli kaseera, ebikozesebwa eby’amazzi, amazzi, bbaatule, akasengejja empewo buli luvannyuma lw’essaawa 8 ez’okukola. Tobuusa maaso bizibu bitono era kuuma emmotoka yo erima nga nnyonjo era oggyemu ettaka eringi n’omuddo ogukwatiramu okwewala obukosefu n’okutalagga era biggyeemu ng’okozesa amazzi oba sabbuuni olwo ogireke ekale nga bw’ogirabiriza.
Okufaananako, ggyamu ebitundu ebikadde ozzeemu ebipya, nyweza emipiira era okebere ekiyoola ettaka ku mmotoka oba kyateekebwako bulungi nga bw’okakasa nti tewali watonnya n’ebituli. Siiga giriisi ku natti, emisumaali n’ennyingo z’emmotoka okutangira okutalagga.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:44Ng'okebera emmotoka erima, kebera emipiira n'empanka nga tonnakola.
00:4501:06 Keberanga emmotoka erima nga tonnatandika kukola n'oluvannyuma lw'okukola.
01:0701:19Ebikozesebwa biteeke wansi oluvannyuma lw'okubikozesa
01:2001:34Kozesa ekitabo ekiraga enkozesa y'emmotoka ku nteekateeka ezongerwako n'enkola.
01:3501:56saba okuwabulwa okuva ewa kitunzi w'emmotoka ezirima singa wabaawo ekitegeerekeka.
01:5702:19keberanga amafuta buli kaseera, ebikozesebwa eby'amazzi, amazzi, bbaatule, akasengejja empewo buli luvannyuma lw'essaawa 8 ez'okukola.
02:2002:50Tobuusa maaso bizibu bitono era kuuma emmotoka yo erima nga nnyonjo.
02:5103:10ggyamu ettaka eringi n'omuddo ogukwatiramu okwewala obukosefu n'okutalagga.
03:1103:24ggyamu ebitundu ebikadde ozzeemu ebipya era onyweze emipiira.
03:2503:40kebera ekiyoola ettaka ku mmotoka oba kyateekebwako bulungi nga bw'okakasa nti tewali watonnya n'ebituli.
03:4103:53Siiga giriisi ku natti, emisumaali n'ennyingo z'emmotoka okutangira okutalagga.
03:5404:33vuga emmotoka erima ng'ogigezesa era beera bulindaala okuzuula ekintu kyonna ekitali kya bulijjo.
04:3404:51Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *