Olw‘okubeera nti omulimu guno gufuna kiralu mu by‘obulimi n‘obulunzi, omutindo n‘obungi bw‘ebintu ebiva mu kulunda embizzi ku salibwawo nnyo tekinologiya w‘okulunda aba akozeseddwa.
Nga bwe waliwo emitendera ena mu kuva mukuzaalibwa n‘okulabirira obubizzi obuto, omutendera ogusooka gwe gw‘okusalako ekundi n‘okuteekawo eddagalya ya ayoddini erikaza, omutendera ogw‘okubiri gwe gw‘okugyamu amannyo amasongovu, omutendera ogw‘okusatu gwe gw‘okigikuba empiso y‘eddagala mili liita emu eya iron dextran mu mubiri n‘omugembayo gwe gw‘okugiwa eddagala erigimusa/ erizimbulukusa omubiri.
Enkwatamu y‘obubizzi obuto
Ku mutendera ogusooka, Salako ekundi ly‘akabizzi akato era lekawo yinki bbiri olwo oteekeko eddagala lya ayoddini okuziyiza obuwuka obuleeta obulwadde okuyingira mu kabizzi akato n‘okuziyiza obulwadde obuleeta okukwata kw‘omusaayi mu nnyingo ekiviirako okuzimba kw‘ennyingo mu bubizzi obuto.
Mu ngeri y‘emu, kuula amannyo amasongovunga weyambisa ekyuma ekikuula okuziyiza obubenje ku bubizzi obulala ate olw‘okuba nti obubizzi obuto buzaalibwa nga tebulina kirungo ekikola omusaayi kimalama, bukube ekirungo kya mili liita emu eya dextran okwongera ku kirungo ekikola omusaayi mu mubiri.
Nekisembayo, obubizzi buwe mili liita bbiri eza eddagala/ ekirungo ekizimbulukusa omubiri okwongera ku birisa ne kirungo kya vitamiini mu bubizzi obuto.