Omuddo kyekizibu ekisinga okutawanya abalimi b’omuceere nga bategeka enimiro, omuddo gunywa amazzi nobugimu mu ttaka nekikendeeza ku makungula agava mu muceere. Waliwo ebikka by’omuddo bibiri; ogw’akaseera n’omuwangaazi.
Mu nimiro eziri mu bitundu ebyakka wansi, simba nga owa amabaganga ga 15cm ate bwoba osimba singo lumu, koola oluvanyuma lwa wiiki satu 3 era oddemu oluvanyuma lwa wiiki bbiri 2 oba satu 3. Wabula bwoba osimbuliza musimbulize, okoola kuntandikwa yokukabala era notekaamu ekirungo kya nitrogen okwongera ku makungula.
Engeri z’okutangira omuddo
. Kabala ettaka, oliseteeze lyenkanekane era oleke amazzi ganjaale munimiro y’omuceere yonna nga gayiisa obuwanvu bw’omuddo okusobola okulemesa omuddo okumeruka naye era kiyambako nokusigulayo emirandira gy’omuddo era gikala oluvanyuma.
Enimiro eterezeddwa ku levo emu girekemu amazzi okumala wiiki bbiri 2 nga bwogalabirira obulungi okusobola okutta omuddo ogulimu.
Kabala ettaka era enimiro ogyangyaazemu amazzi omulundi ogw’okubiri okusobola okutta omuddo kubanga gusobola okweyongera okumeruka nga guva mu insgo n’emirandira.
Kuuma emikuttu omuyisibwa amazzi, n’ensalosalo nga biyonjo era sooka ku fulasiinga mikuttu gy’amazzi kubanga giyinza okuyitiramu ensingo z’omuddo nga ofukirira oba mu mbuyaga.
Kozesa ensigo enamu, ekkaze obulungi, nga ate eterekeddwa bulungi okuva kweyo eyomuddo kisobozese omuceere okumera obulungi nokuba n’emitunsi emigumu.
Londa ekika ky’ensigo enungi, kozesa omuceere ogumeruse okusimba era oguwe amabanga agasaniide okusbola okuvuganya omuddo.
Enimiro jikumiremu amazzi agekigero okusobola okuziyiza ensigo z’omuddo okumera.
Gyamu amazzi gonna awo otekeemu ebigimusa oba eddagala ly’omuddo okwanguya omuceere okukula okusinga omuddo.
Simba mu layini okwanguyiza okwawuula omuceere ku muddo.. Kozesa eddagala ly’omuddo nga omazze okwebuuza ku kituunzi oba omulimisa.