Omuddo ogwonnona ebirime oguyitibwa striga gusobola okulumba ebirime naddala mu budde bwa sizoni oba mw’eddako. N’olwekyo olina okumanya engeri y’okukuuma omuceere gwo obutalumbibwa muddo ogwo.
Omuddo oguyitibwa striga gunyunyuta nnyo omuceere era gwa bulabe ku muceere, kasooli n’ebirime ebirala eby’empeke. Gulumba emirandira gy’ebirime olwo n’egunuunamu amazzi n’ebirungo. N’olw’ensonga eyo, ebimera bitandiika okulwala. Omuddo guno ogwa striga guba n’obusigo obutono obwetabula mu ttaka.
Endabirira y’omuddo oguyitibwa kayongo ogwonoona ekirime ky’omuceere
Okusobola okukuuma omuceere okuva eri omuddo ogwonoona ebirime oguyitibwa kayongo, tolina kusimba muceere ku nnimiro y’emu buli mwaka. Oluvannyuma lw’okukungula omuceere, simba kasooli n’ebirime ebyongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka. Ebirime ebyongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka bibikka ennimiro n’okugikuuma mu budde bw’okulima n’okulima nga kuwedde. Kino kiyamba okulabirira obulungi omuddo ogwonoona ebirime oguyitibwa kayongo n’ekiretera ettaka okugimuka natte. Ebimera ebyongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka ebisinga okukozesebwa mu kkulima okwokutobeka mulimu; kawo, mucuna, ebinyeebwa, rice bean, crotalaria oba stylosanthes.
Bwoba okungula omuceere natte, gusimbe mu binya, nga tolongooseza nnimiro. Wano ekirime ekyongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka kisobola okusigala mu ttaka n’okukuuma ekirime ky’omuceere. Ebirime ebyongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka era biziyiza omusana n’ekigaana omuddo ogwonoona ebirime okumera.
Ebigimusa ebirimu ebirungo biyamba ebimera okukula. Kiba kirungi okugatta ebigimusa ebibiri omulundi ogumu. Bikuwa ebirungo ebitabuddwa n’ebirungiddwa obulungi. Osobola okweyambisa ekigimusa ekitabuddwamu ebirungo eby’enjawulo omuli NPK ne DAP oba ekigimusa ekirimu ekirungo ekimu nga TSP ne kya Urea. Bwogattamu nakavundira oba obusa kikwetaagisa ekirungo ekitabuddwamu ebirungi kitono nnyo. Obusa buteeka ebirungo by’obutonde mu ttaka n’olwekyo kiyamba okulikuuma nga lirimu amazzi atenga ggimu.
Ebika by’omuceere ebimu tebikosebwa nnyo muddo gwonoona muddo ogwa striga. Ebika nga NERICA 2, 3, 4, 8 ne 10 bye bisinga obutakosebwa nnyo. Ekika kya NERICA 5, 9,10 kikosebwa katono. Osobola okukozesa ekika ekirala kyonna ekipya n’okulondako ekikusingira.