Enjuki zimannyiddwa nti zenonnyeza emmere yazo naye mu mbeera mbi , zeetaga okulisibwa okusobola okwewala zzo okutataagannya obutonde nga ziva wezirundibwa.
Mubunnyogovu obususe , tusooka ku zirisa nga tugyemu omubisi ng’obunyogovu tebunatandiika. kino kiwa enjuki obudde obumala okukyusa sukaali okumuza mu gulukosi enjuki gwezikozesa mu bunyogovu. Enjuki ziweebwa amazzi agatabuddwa mu sukaali mu kigero kya 2:1 n’ebitundu bibiri ebya sukaali kubuli kitudu kimu eky’amazzi . Bwoba tosobola kutabula mu kipimo ekyo, tabula sukaali n’amazzi nga bikwafu nga bw’osobola.
Engeri gye baliisa mu enjuki.
Emu ku ngeri y’okuliisaamu enjuki kwe ku kozesa ekiriirwamu ekikoleddwa mu kibaawo.Era osobola okussa akatimba mu kiriirwa mu eky’embaawo okusobola okuziziyiza enjuki okuffa .
Engeri endala kwe kukozesa akalobo nga wetaaga ekisanikira ky’okumuzinga ezy’omunda nga kirimu ekituli. Jjuza akalobo akalina ekituli n’ekirungo kya sukaali n’amazzi mu kasanikila obikyuse wagulu w’omuzinga okakkase nti ekituli mu kisanikila ky’akalobo kikwatagana n’ekituli ekiri mu muzinga .Ekirungo kitonya mpola nga bwe gulemera mu kiffo ekikalu..Osobola okuteeka abokisi akakalu okwetoloola akalobo olumala sanikila ng’okozesa omumwa gw’omuzinga.
Tusobola era okozesa enkola y’okuliisa enjuki nga tukozesa omuzinga oguwanikiddwa waggulu. Gunno gukolebwa mu bokkisi ekoleddwa mu mbaawo ng’ezimbiddwa mu akakubo mu makati okukiriza enjuki okuyitawo okugenda awaterekebwa ekirungo kya sukaali n’amazzi. .Osobola okuteeka oluseke awali ekirungo okwewala enjuki okugwamu .
Enkola esembayo gye tukola eyitibwa barrel wanno tukozesa ekipimo kya gallon barrel 45 ekya sukaali nga atabuddwa mu amazzi nga era olekayo akabanga katono waggulu.Akaseke akalegeya katekebwa mu bbanga elyo erisigadde yo n’akasanikira kayimusibwa mu katono n’akaggo okuva wansi wakasanikira. Ebbanga wakati w’omukebe yo n’akasanikira liyamba enjuki okufuna ekilungo kya sukaali ate ekisanikila kiremesa enkuba okusaanula ekiluno kya sukaali ekiyinza okireetera okukaatuuka.