Emiti gy’ebinaazi giwa abalimi ensimbi olw’ebibala byagyo eby’ebinaazi, wabula gisinga kutawanyizibwa endwadde ez’enjawulo ezivirako enduli okuvunda waggulu nga zino zikwata ennimiro y’ebinaazi ekiviraako okufirizibwa ennyo.
Wabula nga oyita mu kubirabirira onbulungi n’okukozesa eddagala erikakasiddwa mpozzi n’okugoberera emitendera egyaddala egy’okulima emiti nga okukula omuddo, okusalira, okukozesa ebigimusa ezimu ku ndwadde zino zisobola okukolebwako obulungi.
Ekirwadde ky’okuvunda waggulu w’enduli
Ekirwadde kireetera ebikoola by’ebinaaza okusiwuka, kino kiva ku bikoola okufirwa langi ya kiragala n’ebifuna langi ya kyenvu. Obulwadde buno era buvaako ettabi ly’omuti gw’ekinaazi okugwa, oluvannyuma lw’ebitundu by’omunda okuvunda n’ekikendeeza ku buwanvu n’obunene bw’ebikoola ekireetera ettabi ly’omuti okugwa.
Okuziyiza
Tandiika ng’oggyako obutafaali bwonna obulwadde , okukendeeza ku mikisa gy’okulumbibwa obulwadde singa buba busaasaanye mu ennimiro y’ebinaazi. Okwongerezaako, lambula nga ennimiro yo buli kiseera osobole okufuna n’okujjanjaba endwadde amangu ddala nga wakabumanya. Ekisembayo, amangu ddala teekamu eddagala eritangira obulwadde obuleetebwa fungal naddala mu kiseera ky’okukungula era o
salire oluvanyuma lw’okuggyako ebikoola by’ebinaazi.
Obulwadde obukwata endulu obuyitibwa stem wet rot
Obulwadde buno bulaga obubonero nga okumyukirira ebikoola n’ebifuna kala ya kyenvu, ebikoola biwotoka era n’ebifa, obusongoze bw’omuti bufa nekiddirira ekituli ekinene kyetondekawo wansi ku muti wegutandikira. Obulwadde obukwata enduli obuyitibwa stem wet rot busobola okutangirwa nga tukozesa enkola zonna ezeyambisibwa mu kulima.
Obulwadde obuyitibwa dry basal rot
Buno bulaga obubonero nga okuvunda kw’ekibala, ebikoola bya wansi okumenyekera mu makati, omuttunsi okuvunda. Obulwadde obuyitibwa dry basal rot busobola okutangirwa nga tuggyako ebinaazi ebirwadde n’okubiziika mu kinnya ekiweza obuwanvu bwa mita emu.