Embaata kyekimu kubika by‘ebinyonyi 4 ebisinga okulundibwa olw‘amagi. Nga enkoko ezisinga, endyo zembaata ezimu zitera kulundibwa lwabyakwewunda , endala zitera kulundibwa lwa magi oba ennyama.
Olulyo lwembaata ekika kya Khaki Campbell kyekimu ku ndyo zembaata ezisinga obulungi okulundibwa. Zino embaata zimanyiddwa okubiika amagi amagi 340. Olulyo lwa Khaki Campbell zirya bulungi era nga zisobola okugondera embeera z‘obude ezisinga okuziretera okubeera nga zetanirwa abalunzi munsi yonna. Olulyo lwa Campbells ziba nsanyufu nga zifunye emere ey‘etagisa, ekifo ekisirifu wamu n‘awokuliira awamala. Olulyo lwa Campbells zitundibwanga maleeto era ziyinza obutabiika bulungi kati kakasa nti waberawo obulambulukufu nga ogula embaata.
Endyo nga Indian Runner ne Buff ducks
Olulyo lwa Indian runner lulyo lw‘amaanyi mukubiika kubanga amagi amanene agawera nga 300 buli mwaaka. Zisinga kulya muddo era nga ziba mpewufu.
Olulyo lwa Buff ducks lwelumu kundyo z‘embaata ezimanyidwa nga zangeri biri mukuvaamu amagi ne nnyama. Zizitowa pound 7-8. Zibeera na nungi ku nnyama.
Endyo zembaata nga Welsh Harlequin ne Magpie ducks
Olulyo lwa Welsh Harlequin ziyiganyizibwannyo mu malundiro g‘ebisolo. Nakyo kika kiwewufu ekibiika amagi amangi, zitera okubiika amagi 300 ameeru buli mwaaka. Ekika kino kisobola okulundibwa nga kya nnyama era embaata enkazi zitera okubeera enyongobevu.
Olulyo lwa Magpie lulyo lwambaata ez‘eyagaza era nga mpewufu era nga zitera okubeera nga nzirugavu omuli ebyeeru era zitera n‘okusangibwa mu bululu n‘enjeru. Zibiika amagi agawererako nga 290 buli mwaaka .Amagi gakyuuka mu langi ameeru era ne kyenvuyenvu nemu bululu wamu ne kiragala.
Olulyo lwa Ancona
Olulyo lwa Ancona kika kyambaata ey‘ekigero, ekola emirimu ebiri obulungi era nga ebiika amagi 240 buli mwaaka era nga evaamu ennyama ey‘omutindo ew‘oma. Olulyo luno lugira mu langi ez‘enjawulo era nga mulimu enjeru, bululu wamu ne kiragala mu magi. Embaata za Ancona znzikakamu ara nga zagala nyo kuliira mukifo ekigazi.
Olulyo lw‘olonda lujja kusinziira ku kitundu gy‘obeera era n‘ekika kyembaata ekiriyo.