Waliyo ebika by‘obugubi eby‘enjawulo 130 munsi. Waliwo ekika ky‘obugubi ekiyitibwa top notch ekisaanira okulundibwa awaka.
Ekika ky‘obugubi ekya Coturnix kyekisinga okuzza amagoba mubulundibwa. Lw‘elulyo olusinga okuvaamu ekiriisa ekizimba omubiri. Kulw‘okukulira ku misinde emingi, zibeera zituuse okuliibwa ku banga lya wiiki mwenda. Obugubi buno obugwa mubiti eby‘enjawulo busobola okubiika amagi 100-200 mu mwaaka era nga butandika okubiika kubanga lya wiiki 6. Bw‘oba nga oyagala ekinyonyi ekikuwa byombi ennyama, amaggi kino ky‘ekika amakaago kyegeetaaga.
Obugubi ekika kya Bobwhite ne California
Ekika kya bobwhite kyekisinga okubeera n‘obusobozi okuvaamu byombi ennyama n‘amagi. Bulundibwa era okusobola okukozesebwa muby‘emizannyo. Tebukula mangu nnyo nga ekika kya Cortunix n‘olweekyo sikirungi kulundibwa ky‘akufunamu sente. Bubiika amagi 200 buli mwaaka.
Ekika kya California kyekisinga okuvaamu eby‘okwewunda. Businga kulundibwa lwakw‘agala wamu n‘okwongera okuwa awaka endabika ennungi. Butera okubeera nga butono kukika kya Coturnix ne Bobwhite. Buyina ennyama ntono wamu n‘amagi.
Ekika kya Burton ne Blue scale
Obugubi ekika kya Burton busobola okusangibwa mu bulundiro obutonotono. Buyina en‘eyisa yeemu n‘obugubi ebubeera munsiko. Butono era nga bwangu bw‘akukuumira mukayumba.
Obugubi ekika kya Blue scale kyekikyaasinze okusikiriza. Bulungi, bulabika nga buzungu obutono obw‘anguyirwa okubeera munsiko. Bugumu era butambulira mu bibinja ebiseera ebisinga mu mwaaka. Byona wamu, obugubi ekika kya blue scale kisinga kusangibwa munsiko ekitali ku kika kya Bobwhite ne Coturnix.
Obugubi ekika kya Mountain ne Montezuma
Ekika kya Mountain kyawulibwa kuby‘oya by‘akyo ebiwanvu ebiri wagulu ku mutwe gw‘aabwo. Tebulundibwangako lwa nnyama wabula olw‘obulungi.
Obugubi ekika kya Montezuma kyekika ekitalabikalabika ekipya ekisangibwa mu Mexico. Era kimanyidwa nga Hallequin oba Menzes. Kirabika bubi mukikula.