Biogas kika kya mukka ogufunibwa okuva mu bintu ebitandise okukaatuuka okugeza ebisigalira by‘emmere n‘omubi bw‘ebisolo.
Ebiteekebwa mu kkolero okugeza obusa bw‘ente bwe bukungaanyizibwa, butabulwa n‘amazzi ne buteekebwa mu kkolero okuyita mu kifo ekiyingiza obusa. Ekkolero lya biogas likolebwa nga teriyitamu mpewo. Esobozesa ebintu eby‘obutonde ebiteekebwamu okuvunda awatali mukka mulamya okuyita mu mutendera oguyitibwa ogw‘okuvunza awatali mukka mulamyaanaerobic ekitwala ebbanga lya mwezi okukola omukka gwa methane, carbon dioxide, ne hydrogen sulphide nga ebivaamu.
Okulongoosa omukka
Ebivaamu biyisibwa mu kyuma ekyawula omukka ogw‘enjawulo okuva mu biogas omwo omukka ogw‘obulabe ogwa hydrogen sulphide ne carbon dioxide mwe guggibwa. Ekivaamu eky‘enkomeredde gwe mukka gwa biomethane ogusobola okukozesebwa mu kufumba nga beeyambisa gas, ettaala lya biogas ne generator za biogas.
Ekisembayo, ebisigalira eby‘amazzi n‘ebikutte biggibwamu ne bikozesebwa ng‘ebigimusa eby‘obutonde oba ebiriisa by‘ebirime.