Emigaso gya moringa
Moringa ayongera ku kubiika kw’amaggi n’obulamu bw’enkoko olw’ebirungo byalimu.Mukwongerako,molinga atumbula omutindo gw’amaggi nga ayongera ku buggumu bw’ekisusunku ky’eggi eritondebwa,ekyongera ku obuzitto bwalyo awamu n’okutumbula langi y’enjjuba yalyo .Mukugattako,moringa atumbula okwaluza kw’amaggi ,atumbula ku busobozi bw’enkoko okulwanyisa obulwadde era ayamba enkoko ezibiika okugumira ekabiriro eriva ku bbugumu nga agyamu ebiyinza okukosa obutafaali mu mubiri gw’enkoko.
Enteekateeka y’ensaano ya moringa
Tandiika nakulonda bikoola ebiri ku mutindo,oluvannyuma birongoose bulungi era obikazze ng’okozesa empewo mu kisiikirize okusobola okwewala okufiiirwwa ebirungo.Mu kwongerako, ebikola webikala nga bikalubye,bisekule bifuuke ensaano.Olumala,emmere y’enkoko gigatte mu ekipimo kya 5% eky’ensaano ya moringa.