Embizzi zeetaagibwa nnyo olw’ennyama yaazo ejjudde ebiriisa, obusa era zivaamu ssente nnyingi noolwekyo obulunzi bw’embizzi bwa magoba singa zikuumibwa bulungi.
Okwongerako, embizzi zisobola okukuumibwa mu nnyumba wamu n’ebweru, Kikubirizibwa nnyo okugema n’okuliisa embizzi okufunamu obulungi. Okusobola okuzirabirira obulungi zikuumire mu nnyumba.
Endabirira y’ensolo
Bulijjo yawula embizzi enkazi okuva ku bubizzi obuto okwewala akanyigo era kuuma embizzi ensajja enkulu nga ziri zokka okwewala okulwana. Ekirala, teekamu amazzi matonotono mu mmere y’embizzi okwewala emmere okuyingira mu nnyindo z’embizzi. Okwongerako, embizzi ziteerewo aw’okunywera amazzi okuziyamba okukkakkanya emibiri. Ekisembayo, kuumira wamu obubizzi obuto obwenkanankana oluvannyuma lw’okuva ku mabeere okwewala okulwana. Bwoba ozimba ennyumba y’embizzi terina kutunula ewava akasana okwewaza ensolo okufuna ekkabiriro (stress)
Eby’okuteeka mu nkola ng’ozimba
Embizzi zikuumire mu nnyumba zaazo okuzisobozesa okulya obulungi, okuzigema, okutangira obulwadde n’okuzibba. Kakasa nti olongoosa ennyumba y’embizzi buli kiseera okwewala okuwunya. Ekirala,ennyumba y’embizzi gibikke waggulu okwewaza ensolo okutuukibwako akasana butereevu n’ebbugumu. Okwongerako, wansi mu nnyumba y’embizzi walino okuba waggumivu nga w’akolebwa n’enkokoto. Ekisingako kozesa obusolya bwa ssubi kubanga kino kiyamba okukuuma ennyumba y’embizzi nga mpeweevu era teekawo ekifo wezeetaayiza okusobozesa embizzi okufuluma singa ennyumba ebeeramu ebbugumu lingi.
Endabirira y’ennyumba
Tandika ng’otegeka wansi w’ennyumba y’embizzi nga waliwo omukutu amazzi we gayita okukwanguya okulongoosa. Era zibikira enjatika mu nnyumba eyo okuggyamu ebiwuka ebyekweka wansi. Teeka obukuta mu nnyumba y’embizzi okwanguya okulongoosa wamu n’okuzimba ebisenge ebigumu nga bya mita emu obuwanvu okwewaza embizzi okutoloka. Kakasa nti waliwo ewayita empewo okusobozesa empewo okutambula obulungi. Ekisembayo, kozesa empumbu oba obukuta bw’embaawo nga eby’okwebakako okuwa ensolo ebbugumu.