Okusomesa abalimi ku nkozesa entuufu ey‘eddagala eritta ebitonde ebikosa ebimera okukakasa nti likozesebwa mubutuufu okusobola okuyamba mu kulima.
Awatali kukozesa ddagala, ebirime bisigala tebikumiidwa era nga kyangu okwononebwa ekivirako okukula empola. Wabula obwegendereza bwetagisa mu kukozesa eddagala kubanga lisobola okukosa alikozesa wamu n‘ebirime nolwekyo soma obukwakulizo nga tonaba kukozesa, nga okozesa era nga omaze okulikozesa ate era wekaanye wofuyira nebyetoloddewo era obeere ne pulani ey‘amangu nga okozesa eddagala wabweru.
Obukwakulizo nga olikozesa
Okusooka, soma ebiwandikidwako nga tonalikozesa okumanya oba lya butwa, lisiiwa, likwatta omuliro oba lifumuuka. Okwongerako, bwoba ofuyira wabweru, lekawo ebbanga okwetolola nga siwafuyire okusobola okukuuma ebifo ebyokwegendereza.
Okwongerako, yanmbala ebikubika wena era bwomala obyoze nga obyawudde era ogezese ebikola nga tonatandika kufuyira okukakasa nti bikola bulungi.
Buli lwoba ofuyira, bera nbyokwesabika, enjeyo, ekitiyo n‘akalobo okwekumisa obutafumukirwa era bwomala ebitereke nga obyoza mungeri yokuyimu nga bwozaamu.
Kuuma ebikwata ku ddagala lyona lyokozesezako nga mulimu ekika, wewaligula n‘ebbanga kubanga biyinza okuba ebyomugaso.
Obujjanjabi obusokerwako
Singa omira eddagala lino omusawo oba omujjanjabi yenna alina okuitibwa bunambiro ate togezako kwekaka kusesema oba okukiriza omuntu oyo okubako kyanywa kyona.
Mungeri endala, eddagala bwerikukoona ku mubiri, naaba werikoonye nga okozesa amazzi okumala edakika 15-20 era nekisembayo bwoba eddagala olisikidde munyindo, omuntu mutwale awali omuka ogusibwa omulungi era bwaba tassa, mufuuwemu omukka.