»Engeri esinga ey’okulimamu ekirime kya broccoli«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=vQGHtClEv1w&t=169s

Ebbanga: 

04:15:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Growing In The Garden
»Ekirime kya broccoli kirime ekikulira mubunyogovu, era nga kigwa mulubu lw'ebirime oluyitibwa brassica era nga kirimwa olw'okulibwa ekimuli ky'akyo n'obutabi. Newankubade nga ekirime kya broccoli kifumbekedemu ekiriisa kya vitamin ne minerals (vitamin A potassium, folic acid, iron, & calcium to name a few), ab'omumakaagange banyumirwa nnyo okulya broccoli ekiseera kyonna. Okuyiga engeri y'okulimamu ekirime kya broccoli kyangu nnyo. «

»Engeri esinga ey’okulimamu ekirime kya broccoli«

Ekirime kya broccoli kyekimu kunva endiirwa ezirimibwa abalimi benva endiirwa abangi naye waliwo obukodyo obuyina okuteekebwa munkola okusobola okwongeza kumakungula.
Akakodyo akasooka kwekulonda ekika ekisinga ekijja mumbeera y’obudde bwo. Ekirime kya broccoli kisinga kukulira mubunyogovu naye waliwo ebika ebitono ebisobola okukulira mumbeera y’obudde eyo gy’obeera. Ekika ekiyitibwa emperial ekya broccoli kikulira mu bbugumu era kikendeeza okukula kw’akyo ebbugumu werigenda nga likendeera.  Ekika ekiyitibwa green magic kigezaako okugumira ebbugumu, ekika ekiyitibwa bell star kino kisobola okugumira ebbugumu nga bwekikuba amatabi kumabbali ate nga ekika kya marathon kyo kigumira bunyogovu.

Obukodyo obulala

 Simba ekirime kya broccoli mudde obutuufu. Ekirime kya broccoli kyagolanyo obunyogovu n’olwekyo kyetaaga obunyogovu okusobola okukula obulungi. Singa wabaawo ebbugumu lingi ekirime kya broccoli tekijja kukula bulungi. Broccoli akulidde mubunyogovu ajja kubeeranga awooma.
Osobola okusimba ensigo z’ekirime kya broccoli mubanga lya buli wiiki 3 okusobola kubeera nga okungula ekirime kino buli kiseera. Okuloonda ekifo ekituufu okulima ekirime kya broccoli.  Newankubade nga broccoli ayagala obunyogovu naye y’etaaga omusana mungi okubeera nga akula bulungi. Londa ekifo ekifuna omusana ekitono ennyo esaawa 6 buli lunnaku.
 Simba ekirime kya broccoli ku ttaka erigulumiziddwa era nga gimu bulungi. Simba ensigo za broccoli mu binnya bya kimu ky’akuna oba ekitundu kya yiiki mubuwanvu okuzikuza okufuuka endokwa ozisimbulirize mu mabanga ga yiinchi 12ku 20 okuva ku kinnya ekimu okutuusa kukirala.
Faayo eri endokwa za broccoli ezisimbulizidwa. Ekirime kya broccoli kikula bulungi n’amazzi agatakyuukakyuuka.
Teekamu ebigimusa eby’obutonde ebisaanide ekitono enyo omulundi gumu buli mweezi okutuusa bwekikula. Ziyiza obusaanyi mu kirime kyo ekya broccoli.
Kungula broccoli wo mukiseera ekituufu nga ebikoola tebinayanjuluza. Kungula kumakya nga otemako obutabi nga weyambisa akambe akoogi obulungi.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:50Londa ekika kya broccoli ekija mumbeera yo ey'obudde.
00:5101:41Ekirime kya broccoli kyetaaga obunyogovu okukula obulungi.
01:4201:45Simbaekirime kya broccoli mubanga lya buli wiiki 3 okusobola kubeera nga okungula ekirime kino buli kiseera.
01:4601:55 Londa ekifo ekifuna omusana ekitono ennyo esaawa 6 buli lunnaku.
01:5602:03Simba ekirime kya broccoli kuttaka erigulumide omuli ebigimusa eby'obutonde .
02:0402:35Simba endokwa z'ekirime kya broccoli mumabanga ga yiinchi 12 ku 20 okuva kukirime ekimu okutuuka kukirala.
02:3603:10Labirira ekirime kya broccoli ekisimbulizidwa.
03:1103:23Tangira ebitonde eby'onoona ebirime naddala obusaanyi.
03:2404:09Kungula ekirime kya broccoli mubudde obutuufu.
04:1004:15okusiima

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi