»Engeri esinga ey’okuterekamu ensigo«
Ensigo kyekimu kubisinga omugaso kubiteekebwaamu mukulima. Okuzitereka obulungi kizifuula ennamu okumala ekiseera kiwanvu.
Mukutereka ensigo, kakasa nti oziwa embeera esinga ey’okuzitereka.
Ekisinga okubeera eky’omugaso kwekuba nti ensigo tezifuna mazzi, empewo, ebbugumu, n’ekitangaala kubanga enkwatagana yabino byonna ereetera ensigo okumera. Ebbugumu erisaanide okuterekamu ensigo lyakipimo okuva ku 0 okutuusa ku 10degrees celcius.
Obuwangaazi bwensigo
Ensigo bwezifuna empewo olyo obuwangaazi bwaazo bukendeera n’olwekyo funa omukebe ogutayitamu mpewo ozisibiremu.
Okumera kwensigo kukendeera oluvanyuma lw’ekiseera okuyitawo wadde nga ensigo ezimu zanguwa okukedeera kubuwangaazi bwazo okusinga kunddala. Ensigo ezimu tezaagala kuzitereka era teziwangalirako ddala. okugeza, esigo eza chives, katunguluccumu, leek, turnip n’obutungulu. Ensigo ezimu ziyina obuwangaazi bwa myaaka 2 ku 3 bweziba ziterekedwa mumbeera ennungi. okugeza, kaloti, celery, kasooli, fennel, spinach.
Ensigo ezimu ziwangaala ebanga lya myaaka 4 ku 5 okugeza, ebijanjaalo, lettuce, pea, kamulali, radish, chard.
Ebimera ebiwangaala okusukka emyaaka 5 mulimu, ekirime kya cole, cucumber, bbiringanya, mellons, ennyannya, ensuju ne squash.
Obukodyo mukutereka ensigo
Funa enkola ekukolera okusinziira kukika ky’ensigo z’olina era n’obungi bw’azo.
Kakasa nti olamba ensigo zo n’obubaka bungi nga bwekisoboka.
Gunjaawo enkola gy’okozesa era okyuusekyuuse ensigo zo buli makungula kwekugamba, kozesa ensigo enkadde nga tonakozesa mpya.