Omuddo ogukaziddwako gubeera muddo ogutakaze nnyo ogukkatiddwa ne gusibibwa wamu ng‘ekitereke era gusobola okuterekebwa okuliisibwa ensolo mu biseera by‘ebbula ly‘emmere y‘ensolo.
Okukola omuddo gw‘ensolo ogukaziddwako, omuddo guleke gukule, gusale era oguleke guddemu okukula. Oluvannyuma lw‘okugusala, omuddo guleke gukaleekalemu. Gusibe mu kiveera era ogutereke mu kifo ekiri wagguluko nga kiri nga etterekero ly‘omuddo ogukaziddwako. Nga guweereddwa embuzi, embuzi tezirya buli kimu. Ziryako bukoola ne zireka obutiititi ekireeta okwonoona.
Okwongera ebirungo mu muddo ogukaziddwako
Okukendeeza okwonoona, temaatema omuddo obeere ng‘agusekula nga okozesa ekyuma, ogugatte n‘akaloddo. Akaloddo kalina okubeera ak‘amazzi okukendeeza ku kukwatira kwako.
Osobola okuyiwa akaloddo ku muddo ogusekuddwa olweggulo era n‘obikkako. We bukeerera, omuddo ogukaziddwako gujja kuba gugonze era oguwe embuzi.
Akaloddo kawoomesa omuddo ogukaziddwako ekigufuula oguliika amangu eri embuzi. Akaloddo era kalina ssukaali n‘ekirungo ekiwa amaanyi ekikozesebwa ensolo.
Oluvannyuma lw‘okutabula akaloddo n‘omuddo ogukaziddwako, gabula embuzi omuddo ogwo mu biriiro byazo.