Enkoko z‘ennyama zikula era zibeera n‘omubiri omuzito olw‘ensonga nti obutafaali bw‘omubiri gwaazo buzikuza mangu n‘abwekityo enkoko zino zireeta amagoba mangi mukaseera katono ddala.
Enkoko ezivudde mumatundiro g‘obukoko agesigika zibeera n‘obutafaali mumubiri obuzisobozesa okukula amangu n‘abwekityo kyamugaso nnyo okusooka ononyereza era n‘okwebuuza ku kifo ekyesigika wonyinza ogugula obukoko bw‘ennyama obw‘omutindo omulungi.
Okwongera kubuzito
Tandika na kussengeka nkoko ng‘osinziira kubuzito n‘obunene bwaazo kino kiyamba enkoko zonna ezikumirwa awamu okusobola okutuuka kummere nabw‘ekityo n‘ezirya era n‘ezikula bulungi. Start
Ekirala bw‘oba olunda kakasa ng‘oliisa enkoko kumere ey‘omutindo ogwawagulu ate ng‘erimu ekiriisa ekiziimba omubiri kisobozese ebinywa by‘enkoko okula obulungi.
Kakasa ng‘enkoko z‘ennyama ziriira mubudde ate nga tezirumwa nnyo njala olwo zisobole okutukana n‘omutindo kukatale.
Ekisembayo, nga tonatandika bulunzi bwankoko sooka ononyereza era webuuze ku kifo wonyinza ogugula obukoko bw‘ennyama obw‘omutindo omulungi kubanga obukoko obulungi bukula mangu olwo n‘ebuza amagoba eri abalunzi mukaseera katono.