Nga ebirime, n’emiti gikosebwa ebitonde ebyonoona ebirime era okwekebejja kikulu mu kulwanyisa ebiwuka ebyonoona emiti.
Bwoba weekebejja ebitonde ebyonoona emiti, kebera ku bikoola era bino birina okuba nga biramu bulungi era nga bya kiragala. Singa ebikoola bifuna langi ya kitaka ku mabbali oba ne bifuna amabala, ebitundu ebirabika nga ebyaliibwa, bino biraga nti oyinza okuba olumbiddwa ebiwuka ebyonoona emiti ebiyinza oba ebitayinza kwetaaga kukolebwako.
Okwekebejja ebitonde ebyonoona emiti
Ekifo ekirala eky’okukebera bwoba okebera ebitonde ebyonoona emiti ge matabi n’enduli y’omuti. Mu kino, noonya ebifo ebitafaanana na muti, noonya ebituli ku nduli oba ku matabi amalala amanene. Ebituli bino biraga obukosefu obuva ku bitonde ebyonoona emiti.
Era kebera ku mirandira olabe oba girina obukosefu.
Mu kwekebejja ebiwuka ebyonoona emiti, jjukira nti ebiwuka ebimu birina emiti gyebirumba egy’enkomeredde okugeza obutuli obutono ku nduli y’omuti gwa pine kiraga nti ekiwuka kya pine beetle kirumbye omuti ogwo.
Mu kwekebejja, kebera n’emiti egitalumbiddwa.