Nakavundira ow’obutonde asobo;a okukozesebwa mu nimiro nga wayise enaku 60 okuva lwakolebwa, kino kiyamba okutereza enkula y’ettaka nekiyamba entambula y’empewo mu ttaka, engeri ebimera gyebitambuzamu ebiriisa wamu nokuwangaala mu ttaka.
Ebiseera ebisinga ebintu ebipya byebikozesebwa mu kutekateka kubnaga bivunda mangu, birimu Crabon mutono nga tae Nitrogen mungi era nga ebikalu bivunda mpola ngate mulimu Carbon mungi nolwekyo kikulu okukuuma obungi bwebikalu n’ebibisi. Wabula bwoba otekateka okukola nakavundira entumu ya nakavundira terina kusuka fuuti 4 obuwamvu okusobozesa empewo okutambula obulungi.
Okukola entumu
Tandika na kukunganya n’okutegeka ebintu ebivunda ebikalu n’ebibisi okufuna ekivaamu ekirungi. Era ebikola obifukirire okubikuuma nga bibisi.
Okugattako tekateka ekirungo nga otabula kilo 1 ey’obusa bw’ente, 1L ey’omusulo gw’ente, kilo 25 eza kaloddo mu 10L ez’amazzi kubanga kino kiretera obuwuka obutono okukula.
Ekyokusatu, tema oyanjale ebissubi ku mugo gwa 5cm ku ttaka awaterevu okusobozesa entumu okuyitamu empewo obuwuka gyebusa.
Okwongerako, gatako omugo gwa 15cm nga gwa bikoola bya kiragala, omansireko ekirungo ku ngulu era ogateko 15cm ez’omugo gw’ebisubi ebikalu.
Olwo, oyanjaleko omugo gwa 7.5cm ogw’obusa bw’ente obuvunze, mansirako amazzi wamu n’ekirungo ku ngulu okukuuma obunyogovu.
Kino kirina kugobererwa kutekako ebivavava paka nga entuumu etuuse ku fuuti 4 , omansireko amazzi buli lunaku okukuuma obunyogovu.
Bwomala ekyo bikako ekiveera ku ntuumu okukuuma ebbugumu n’amazzi okwanguya ku kuvunda.
Era sonseka akati akakalu munda esaawa 24 nga wakamala okutekateka okukakasa nti okuvunda kutambula bulungi.
Ekisembayo kakasa nti obikyusamu ku wiiki 3 okuyambako okwanguya okuvunda era okuume nakavundira nga mubisi.