Okukola eddagala ery’obutonde eritta ebiwuka okuva mubikoola by’ekirime kya neem, ekisooka, oyina okukungaanya ebikoola bya neem. Bino bisobola okufunibwa okuva ku muti gwa neem bwoba nga ogulina oba okuva mu butale bwenva endiirwa bwoba nga toyina muti gwa neem. Jako ebikoola ku matabi era no’butabi obutemeteme mubutundutundu obutono nga weyambisa magalo obuse mu ntamu.
Emitendera emirala
Emiti gya neem gimera munsi yonna n’olweekyo osobola okusimbayo gumu. Mubantu, omuti gwa neem era gukozesebwa okuwonya enddwadde zensusu. Gulimu ekirungo ekikola ekigusobozesa okubeera eddagala eritta ebitondo ebyonoona ebirime wamu n’ebiwuka ate era n’okutta obuwuka obusirikitu obuyitibwa fungus.
Ssekula ebinzaali ebiganda ebibisi era obigatte mu bikoola bya neem kubanga ebinzaali ebiganda nabyo bitta ebiwuka wamu n’obuwuka obusirikitu obuyitibwa fungus.
Okugatako. Yiwamu amazzi mubikoola bya neem era ofumbe ku bugumu lyakigero wakati weddakiika 15 ku 20. Gattamu liita y’amazzi 1 mubuli gulaamuzi 100 ez’ebikoola bya neem.
Oluvanyuma ly’okufumba, bikira ebitabuddwa mukisikirize era obikuumire esaawa 24. Kino kijja kuleetera langi yabyo okukyuuka.
Ssengeja ebitabuddwa era okozese ebiseja by’ebikoola bya neem okukola nnakavundira. Tabula amazzi n’ebyo ebissengejedwa mubipimo bya 1:1 era obikeko n’akatole katono akayitibwa camphor era obireke binyikire okumala eddakiika nga 10. Camphor si ddagala eritta ebiwuka wabula empunya ye eyamba mukugoba ebiwuka.
Kaakano ebitabuddwa bibeera bituuse okukozesebwa nga eddagala erita ebiwuka. Eddagala lino lifuuyirwa ku bimera era lisobola okutangira obuwuka obusirikitu, nnabubi, enkuyege, white flies wamu n’ebiku naye ate ebiwuka eby’omugaso tebisobola kukosebwa. Kozesa eddagala kumakya oba akawungeezi nga omusana gumaze okukka.