Waliwo ebisigalira bingi mu maka gaffe bye tusobola okufuula nnakavundira akozesebwa mu nnimiro ng’ebigimusa ne bwoba nga tolina kifo waterekebwa nnakavundira.
Okukola ekifo awaterekebwa nnakavundira, ojja kwetaaga ekitundu kya yinci y’akatimba n’emiti ena. Emiti giteeke mu ttaka era ogyetoolooze akatimba. Kakasa nti ekifo awaterekebwa nnakavundira kirina obugazi bwa fuuti ssatu ne fuuti ssatu mu kukka. Kino kikusobozesa okukyusa nnakavundira, kakasa nti ekifo awaterekebwa nnakavundira kikuuma ebbugumu era kakasa nti ebikozesebwa mu kifo ekyo bisigala biweweevu obuwuka obusirikitu busobole okumenyaamenya ebikozesebwa bifuuke nnakavundira.
Ebigobererwa mu kukola nnakavundira
Osobola okubeera n’ebisigalira byo eby’okukolamu nnakavundira okuva mu beekeeri, enva endiirwa embisi oba ebikaze. Enva endiirwa zisobola okuba ebisigalira by’emmere yo byonna, ebikoola era ebya kitaka bisobola okuba ebikoola ebikalu.
Bitabule ku kipimo kya 1:3 ob 1:5 nga bw’ogattamu obusa bw’ente wakati w’emitendera gyabyo.
Mu kujjuza ekifo awaterekebwa nnakavundira, omuddo omukalu guteeke wansi ozzeeko enva endiirwa n’ebisigalira by’emmere.
Bwoba oyagala okumenyekamenyeka kukolebwe mangu ne nnakavundira okufunibwa amangu, ebikozesebwa bisaleesalemu obutundu butono nga tonnabiteeka mu kifo awaterekebwa nnakavundira.
Weweeza ebikozesebwa ng’oyiwamu ku mazzi. Bwoba okyalina ebikozesebwa nga nnakavundira tannajjula, yongeramu emitendera gy’ebikozesebwa ebirala mu nsengeka eyo waggulu.
Yoola ekibatu ky’ettaka okimansire ku bikozesebwa okukakasa nti obuwuka obusirikitu mwebuli okumenyaamenya ebikozesebwa.
Mukuume nga muweweevu era omukyuse buli nnaku 3 ku 5 okusobozesa ebikozesebwa okumenyekamenyeka amangu.