Engeri y’okukolamu emere ya semutundu wamu n’empeke nga weyambiisa ebintu bya bulijjo

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=fOyiJZs-OgQ

Ebbanga: 

04:44:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Sunshine Resources Srtv
Okutabula emere kikulu nnyo mu bulunzi bw'ebyenyanja kuba emere egulibwa ebweru w'eggwanga ya bbeeyi nnyo olw'emisolo egiri waggulu. Nolwekyo okwetekeratera emere y'ebyenyanja eyabulijjo ekendeeza ku sente z'emere ebitundu 70 ku 100. Okutabula emere ya semutundu obulungi wetaaga kilo 15 ez'obuwunga bwa muwogo, kilo 15 ez'obuwunga bwa kasooli, kilo 20 ez'ebinyebwa ebinyige, kilo 30 eza soya liita 5 ez'omusaayi. koli 0.1 eza methione, kilo 25 ez'amukene omusekure, o.1 eza vitamin C wamu ne 0.2 kilo z'omunnyo.

Emitendera 

Tandika nga ofumba liita 5 ez’amazzi amayonjo, bwegajja ogayiwemu kalobo aka liita 20, ogatemu obuwunga bwa muwogo era otabule, Bwomala, gatamu obungi bwebumu obw’omusaayi omufumbe, ozeeko soya, mukene, methione era otabule bulungi. Okugatako, yenga omunnyo mu mazzi, amazzi ago ogayiwe mubyewasoose okutabula oyongere okutabula.

 Engeri y’okukolamu empeke

Nga omaze okutabula ekirungo, kiyiwe mu kyuma  ekikola empeke era okyuuse awafulumira empeke wenkane obunene bwoyagala. Bwomala, kyusa ekyuma ekikola empeke okusobola okuyiwamu ebyatabudwa okubifuula empeke. 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:29Okutabula emere kikulu nnyo mu bulunzi bw'ebyenyanja, emere egulibwa ebweru w'eggwanga ya bbeeyi nnyo.
00:3001:01Okukola emere ya semutundu mu ngeri y'abulijjo kyangu ate nga kikendeeza ku bigulibwa.
01:0201:31Ebirungo: kilo 15 ez'obuwunga bwa muwogo, kilo 15 ez'obuwunga bwa kasooli, kilo 20 ez'ebinyebwa ebinyige, kilo 30 eza soya
01:3201:59 liita 5 ez'omusaayi. koli 0.1 eza methione, kilo 25 ez'amukene omusekure, o.1 eza vitamin C wamu ne 0.2 kilo z'omunnyo.
02:0002:17Emitendera: Fumba liita 5 ez'amazzi amayonjo, bwegajja ogayiwemu kalobo aka liita 20, ogatemu obuwunga bwa muwogo era otabule
02:1802:35Gatamu obungi bwebumu obw'omusaayi omufumbe, ozeeko soya, mukene, methione era otabule bulungi.
02:3602:46yenga omunnyo mu mazzi, amazzi ago ogayiwe mubyewasoose okutabula oyongere okutabula.
02:4704:06Engeri y'okukola empeke: Byotabude biyiwe mu kyuma ekikola empeke era okyuuse awafulumira empeke wenkane obunene bwoyagala.
04:0704:44Kyusakyusa ekyuma ekikuba empeke okusobozesa ebitabudwa okukola empeke.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *