Okukungula omubisi
Mu kusooka, ekintu ky’okozesa mu kunyokeza kigyuze n’ebikozesebwa ebitalimu butwa era onyokeze ku mulyango gw’omuzinga gw’enjuki, oluvanyuma, teeka ebisenge by’enjuki ebiggyiddwamu omubisi mu bikebe ebitukula bireme kwonooneka. era okakase nti onyokeza enjuki ng’oggyamu ebisenge by’enjuki okuva mu mizinga. Mu kumaliriza , zaayo ebisenge by’enjuki munda mu muzinga n’obwegendereza nga tokoseza njuki era oluvanyuma lw’okukungula obikkeko.
Okuwakula omubisi
Ng’omaliriza okukungula omubisi, sekula ebisenge by’enjuki ebikunguddwa mu mukebe ogutukula oba akalobo.Okwongerezaako, sengejja ebisenge by’enjuki ebisekuddwa nga weyambisa akasengejja akali ku mutindo okusobola okwawula omubisi gw’enjuki ne wax. Mu kusembayo, pakira omubisi gw’enjuki ogusengejjeddwa mu mikebe egitukula ateera egirina obugazi obwetaagibwa okuteeka ku katale