Engeri y’okukuuma enteekateeka z’okwewala okuleeta obulwadde ku faamu mu kutikka n’okutikkula embizzi.

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=WrThkw3AWH0

Ebbanga: 

00:09:51

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2017

Ensibuko / Omuwandiisi: 

NeogenCorp
Akatyabaga akasinga okuleeta obulwadde okusaasaana bye byentambula. Okukuuma enkola y'okwewala okuleeta obulwadde ku faamu oluvannyuma lw'okulongoosa, okutangira obulwadde n'okukaza, emitendera emirungi girina okugobererwa okukakasa nti obuwuka obuleeta obulwadde tebusaasaana. Omukugu mu by'okwewala obulwadde ku faamu, musawo Andrea Pitkin okuva mu PIC agenda kutuyisa mu kwewala obulwadde ku faamu gyoli, omuvuzi, embizzi n'abantu abalala ku faamu n'ebweru wa faamu.

Ebyobulamu, omutindo n’obungi bw’ensolo ku faamu birabibwa okusinziira ku buyonjo, okwewala obulwadde n’okutangira ebiwuka.

Obulwadde bw’okussa obusinga mu mbizzi buva mu kuzitambuza okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala. Mu nkola y’okutambuza embizzi, waliwo obwetaavu bw’okukakasa entambula n’okuteeka mu mmotoka ebyetaagisa nga obuveera bwa kasasiro, eddagala erirongoosa engalo, eby’okwambala ebiyonjo, gambuutu n’ebirala.
Emitendera gy’okwewala okuleeta obulwadde ku faamu.
Ekisooka funa ekikakasa entambula yo era mu mmotoka teekamu ebyetaagisa nga obuveera bwa kasasiro, eddagala erirongoosa engalo, eby’okwambala ebiyonjo, gambuutu n’ekintu omuteekebwa ebikozesebwa okwewala obulwadde ku faamu okusobola okuva mu mmotoka emu okutuuka mu eyo erimu embizzi. Yamba ebyambalo ne gambuutu era kakasa nti ebigere tebituuka mu mmotoka.
Okufaananako, teekawo ekintu omuteekebwa ebikozesebwa okwewala obulwadde ku faamu era tokkiriza bigere byo kutuuka ku ttaka , ggyamu engatto olinnye butereevu ku kisaanikira. Yambala ekyambalo, gambuutu, ebibikka engalo era yingira emmotoka okutikka embizzi era oluvannyuma, komawo mu kiteekebwamu ebyokwekuumisa okyuse odde mu ngoye ze wabaddemu. Tereka ebikozesebwa okwewala obulwadde era onaabe engalo zo n’eddagala eritangira obulwadde.
Weeyongereyo ng’otambuza bulungi embizzi nga okozesa ekkubo eddungi erituuka obutereevu ku faamu okukuuma ensolo era bwoba ku faamu, yambala ebyambalo by’okwekuumisa ng’ogoberera emitendera gya faamu. Tikkula embizzi, vva mu mmotoka era oteeke omukono ku mpapula ezeetaagisa.
Ekisembayo, kuuma ebikozesebwa okulongoosa ng’obiteeka mu kaveera ka kasasiro olambeko nti biddugala, longoosa, fuuyira n’eddagala era okaze emmotoka okugiteekerateekera olutikka olulala.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:57Funa ebikakasa entambula.
01:5802:09Emmotoka giteekemu ebyetaagisa.
02:1002:38beera n'ekintu omuteekebwa ebikozesebwa okwewala obulwadde ku faamu okusobola okuva mu mmotoka emu okutuuka mu eyo erimu embizzi.
02:3903:43Yambala ekyambalo ne gambuutu era kakasa nti ebigere tebituuka mu mmotoka munda.
03:4404:17 teekawo ekintu omuteekebwa ebikozesebwa okwewala obulwadde ku faamu era tokkiriza bigere byo kutuuka ku ttaka , ggyamu engatto olinnye butereevu ku kisaanikira.
04:1805:19Yambala ekyambalo, gambuutu, ebibikka engalo era yingira emmotoka okutikka embizzi.
05:2005:30oluvannyuma, komawo mu kiteekebwamu ebyokwekuumisa okyuse odde mu ngoye ze wabaddemu.
05:3106:43Tereka ebikozesebwa era onaabe engalo
06:4407:10tambuza bulungi embizzi nga okozesa ekkubo eddungi erituuka obutereevu ku faamu okukuuma ensolo.
07:1107:39Bwoba ku faamu, yambala ebyambalo by'okwekuumisa ng'ogoberera emitendera gya faamu.
07:4008:34Tikkula embizzi, vva mu mmotoka era oteeke omukono ku mpapula ezeetaagisa.
08:3508:48kuuma ebikozesebwa okulongoosa ng'obiteeka mu kaveera ka kasasiro olambeko nti biddugala.
08:4909:03longoosa, fuuyira n'eddagala era okaze emmotoka okugiteekerateekera olutikka olulala.
09:0409:51Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *