Obutunda bw‘amugaso nyo mubulamu bwaffe era singa bulimibwa mungeri ey‘omutindo omulungi bwetanirwa nyo ne kukatale olw‘nebuza amagoba mangi eri abalimi.
Ekirala okufuuyira obutunda kyekimu kubigobererwa mubulimi bw‘obutunda okusobola okufuna obutunda obw‘omutindo omulungi. Kyamugaso nyo okufuuyira obutunda ng‘okozesa ekirungo kya potassium kino kiyamba obutunda okwengera obulungi amangu ddala olwo n‘ebubeera bw‘atunzi kukatale era omulimi nasobola okufunako amagoba.
Ebigobererwa mukulima
Buli luvannyuma lwakabanga akagere teeka ebigimusa eby‘etaagisa ku bikolo by‘obutunda kisobozese obutunda okula obulungi awamu n‘okuwa amagoba amagi.
Ekirala kakasa nga okoola wamu n‘okusalira obutunda kisobozese ennimiro yo ey‘obutunda okuba nga nyonjo.
Fuuyira obutunda mubudde nga weyambisa eddagala erirambikiddwa mubipimo ebituufu kino kiyamba okukendeeza kundwadde munimiro wamu n‘okwetaangira obuwuka obuleeta endwadde.
Buli kiseera fuuyira obutunda n‘ebigimusa ebifuuyirwa ku bikoola, ebigimusa bino birina okubamu ekirungo kya calcium, boron ne zinc kisobozese obutunda okula obulungi.
Wegendereze nga okungula wamu n‘okweyabisa ebintu ebiweweevu mumakungula osobole okwewala okukalabula obutunda obukungulwa busobole okutukana n‘omutindo kukatale.