Obulunzi bw’ebinnyonyi obwamagoba nsibuka y’ekirisa ekizimba ebisolo,era bakufuna mu ensimbi.
Waliwo emitendera abalunzi gye balina ogoberera okusobola okufuna amagoba mu bulunzi bw’ebinnyonyi.Mu kugattako,abalunzi balina okwekkenennya ebipimo by’ebbugumu n’obunnyogovu mu biyumba by’enkoko ngabamazze oba nga tebanaba kuleeta bukoko era bajjukire okupima ebbugumu n’obunnyogovu okuvva ku kasolya ne ku ttaka.
Ebirina okufiirwako
Bulijjo kyusa obukutta ,obugyeko obukyafu era okakkase nti ekiyumba kitukula n’ebikozesebwa bibeere nga bitukula okuli ebinnywerwa mu,n’ebiriirwa mu okusobola okwewala enddwade.
Kakkasa nti ebiyumba obigala okusobola okuleetawo ebbugumu eri ebinnyonyi.
Mu kugattako,tteeka wo enkoko wezinaabira obugere okusobozesa enkoko okuyonja obugere nga tezinayingira mu kiyumba.
Bulijjo pangulula ebikozesebwa woba obyoza era obiwanike ko katono okuva wansi okusinzira ku bunenne bw’enkoko.
Mu kwongerako kozesa ebiriirwa mu ebirungi okusinzira ku mutendera enkoko kweziba era obiteekeko waggulu okuva wansi okwewala emmere okwetabula n’amazzi.
Mu nkola yemu,ppima era okuume ebbugumu mu biyumba okusobola okwanguya ku ndiisa y’enkoko era oteeketeeke ebiyumba nga wansi oteekawo obukuta.
Mu kusembyayo,amazzi gatabulemu eddagala eritta obuwuka okusobozesa obukoko okukula obulungi.