Embuzi nsolo ezekengera enyo nga ziwangaala okumala emyaka 10 ku 14. Zagalibwa nnyo okwetolola ensi naye omuntu okuzifunamu amagoba agawera, endabirira entuufu erina okugobererwa.
Era embuzi nsolo enegendereza, ngezi nga zirina okukwatibwa n‘obwegendereza. Embuzi enamu erina okuba n‘amaso agatukula, olususu oluwewevu nga lumasamasa nga ziwulira nnyo era nga zagala okulya , kiwabulibwa okulaba omusawo w‘ebisolo ku ngeri y‘okuliisa embuzi era nokunonyereza ku muddo ogw‘obutwa.
Ebikolebwa mu kulabirira
Ziwenga ebiyumba ebigazi obulungi nga mulimu obukutta oba ebisubi okaba nga zikola duyiro bulungi mu kifo ekigazi nga kikalu.
Era kebera ne banamateka bokukitundu okulaba oba embuzi zikirizibwa okulundibwa mu kitundu ekyo.
Okugattako, kakasa nti ekiyumba ky‘embuzi okikuuma nga kikalu kubanga embuzi zetaaga awasulwa awakalu okubeera en amu.
Kakasa nti otekako enzigi nebizisiba ku kiyumba okusoba okukuuma embuzi eri eby ebiziyiganya,
Kolangawo olukomera lwa buwanvu bwa fuuti 5 okwewala embuzi okutoloka kubanga zirina omuze ogwokubuuka nga zirambula.
Kakasa nti zikeberebwa buli banga gere nga bwewebuuza ku mukugu omujjanjabi w‘ebisolo okufuna amawulire amakulu okugeza ku ntekateka z‘okugema.
Okwongerako, kebera ebigere by‘ebisolo buli lunaku ebikomole kubanga embuzi zikwatibwa nyo endwadde z‘ebigere wabula okukomola kulina kukolebwa mukugu.
Era sanirira ebyoya/olususu lwazo okugyamu ebikyafu era oziwe omuddo ogukazidwa ku katandalo okukuuma emmere etukana obulungi.
Kikubirizibwa okuwa embuzi amazzi amayonjo buli kaseera
Nekisembayo, kiriza ensolo zikole duyiro era oyonje wezisiiba buli lunaku okwewala okukwatibwa endwadde.