Sserale nva ndiirwa ezikulira mu budde obuweweevu, mu kisiikirize era ezigumira ebbugumu, ezimanyiddwa olw‘enseke zaazo ezirimu omubisi era ezitawaanyizibwa endwadde entono era tezeetaaga ndabirira yaamaanyi. Wabula, ebbugumu bwe lyeyongera kikendeeza omutindo.
Okulima sserale kwetaagisa emitendera emyangungu era bulijjo sserale alimiddwa awaka awooma nnyo era alabika bulungi. Ensigo za sserale zimerera wakati wa wiiki ebbiri n‘omwezi, noolwekyo tandika n‘ensigo mu bbanga lya myezi ng‘ebiri n‘ekitundu nga okusiga tekunnatuuka, engeri gye kiri nti akula mpola. Okusiga kulina okukolebwa mu kwewala omusana anti kino kireetera okuwanvuwako okw‘enduli. Okusimbuliza kulina okukolebwa nga sserale awezezza wiiki nnya.
Emitendera
Nnyika ensigo okumala essaawa kkumi na bbiri, zizinge mu kipapula, zifunyize mu kaveera era oziteeke mu ffiriigi okumala essaawa abiri mu nnya okusisimula okumera.
Siga ensigo mu ttaka eriteekeddwa mu bisuwa oba emikebe mw‘ogenda era okuume ettaka nga bbisi engeri gye kiri nti ensigo zirwawo okumera.
Yawula endokwa era oteeke buli kimera mu kasenge akasimbibwamu akeeyawudde.
Bikka emirandira nga okozesa ettaka eritabuddwa erigenda okusigibwamu era bulijjo fukirira endokwa okukula obulungi.
Simba sserale mu kitundu kya ffuuti okuva ku mulala engeri gye kiri nti okusimba nga omuliraanaganyizza kivaamu enduli enkwafu ate ennyimpi.
Oluvannyuma lw‘okusimbuliza mu bujjuvu fukirira olw‘okukula obulungi.
Teekamu ebintu eby‘obutonde era oyongerezeeko ebigimusa ebikolerere nga kyetaagisizza.
Salako enduli ennene nga za kulya era oleke ekirime kimere enseke empya oba kungula ekirime kyonna.