Okulimira ennyaanya mu nnyumba kyongera amakungula n’okukozesa obulungi amazzi wakati mu kutangira ebuzibu mu kulima, ebitonde ebyonoona ebirime n’endwadde. Bulijjo, okukungula kukolebwa mu wiiki kkumi oluvannyuma lw’okusimbuliza.
Bulijjo, ebirime by’ennyaanya eby’omu nnyumba biwa amakungula ga kilo 20 oluvannyuma lw’emyezi 8 ku buli kirime. Okwongerako, kakasa nti weerongoosa nga tonnayingira nnyumba erimirwamu okutangira obulwadde. Ekirala bwoba osimbuliza kakasa nti endokwa zirina enduli engumu wamu n’endokwa ezeewunzise okuleetera emirandira emirala okumera.
Emitendera egy’okuteeka mu nkola
Tandika n’okusiga endokwa nga zirina amabanga ga 20cm ne 1cm mu kukka ku ttaka eriweweevu era ziteekebwe mu mikebe. Oluvannyuma kendeeza ebikoola ku ndokwa okutuuka ku 7cm mu nnyiriri okukakasa nti zikula bulungi. Simbuliza endokwa mu mwezi gumu oluvannyuma lw’okumeruka oziteeke ku ttaka eggimu nga liteeketeeke bulungi nga lya buwanvu bwa fuuti 1.5 mu kukka. Kakasa nti endokwa ziweebwa amabanga agamala okusobozesa ebirime okukula obulungi. Okwongerako, bwoba osimbuliza kakasa nti endokwa zisimbibwa ku 2cm mu kukka.
Endabirira y’ebimera
Ekisooka, teekamu ekirungo kya urea okusobozesa ebirime okukula, ebigimusa by’obutonde okwongera ku biriisa mu ttaka era fuba okulimiranga mu nnyiriri okwewala okwetuuma kw’ettaka. Ekirala teekawo ebiwanirira ebirime okwewala okwewunzika, salira ebirime n’engalo era oggyeko ebikoola byonna nga ebibala bilabise okusobozesa ekitangaala okuyitamu. Ekisembayo, tangira endwadde, fukirira ebirime kumakya n’olweggulo okwewala okufa kw’ebirime.