Obulo muteeko kubyo ebirime eby’empeke entono ddala ebirimibwa okwetolola ensi nga emere ey’empeke era eribwa abantu n’ebisolo.
Busobola okukola ennyo mu kuziyiza nokuwonya endwadde nyingi . Obulo bulimu ebiriisa ebyomuwendo bingi ebirungi mu butonde. Kubanga bugaga mu miwula, eminnyo nga magnesium, phosphorus, iron, calcium, zinc ne potassium. Obulo bwetaaga ebbugumu okumera wamu nokukula era bikosebwa nyo obunyogovu obuyitiridde. Ebbugumu erisinga okusanira liri 68-86^F.
Ebyetagisa mu ttaka
Obulo buzaala bulungi mu ttaka erikunkumuka. Tebujja kugumira wantu watubira mazzi oba omusana ogususe. Obulo busimbibwa nga ensigo esonsekebwa mu ttaka ku buwanvu bwa inch wansi.
Nitrogen kyekirungo ekitera obutamala nu kulima obulo. Obungi bwa Nitrogen bulina kusinzira ku makungula n’enkula wamu nabiki ebyali birimibwa. Nitrogen ayitiridde oba asibwamu busa oba yasigalira busigalizi akosa okegejja kw’obulo.
Ebika
Omuwemba gwetaaga ebbugumu lya wakiri diguli 25^c okukuwa amakungula agasinga mu mwaka. Ebiwuka n’endwadde tebitera kulabibwa mu muwemba naye ebinyonyi byo kyakwerarikiriza.
Obulo ate bwo buvaamu phosporus omungi akola ekyamanyi mu kuzimba obutafali bw’omubiri. Obulo bulimi Calcium ne protein era nga mulimu ne iron wamu n’ebirungo ebirala bingi.
Okulwanyisa ebitonde ebikosa obulo
Amayanzi gegakyasinze okulya obulo. Eddagala ly’ebiwuka lyakirizibwa okukozesebwa ku bulo okusobola okulwanyisa amayanzi. Akasanyi (Army worm) nako kamanyi okwegirisa naye nga kakyasobola okulwanyisibwa.
Obulobuba butuuse okukungulwa singa ensigo ezisooka waggulu ku kirimba ziba zikuze. Ensigo eziri wansi mu birimba ziyinza okuba nga zikyali naye ziba tezikyalina langi yazo eya kiragala. Okutuuka wano, ebikoola n’obutabi biyinza okuba bga bikyali bya kiragala.