Engeri y’okusaanuusa wax w’enjjuki okuva mu bisenge by’enjjuki.

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=MaplIoJbhew&t=6s

Ebbanga: 

03:47:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2015

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Darbin Orvar
Akatambi Akatambi kakwata ku ngeri y’okusaanusa omubisi okuva mu bisenge by’enjjuki nga okozesa ensuwa,amazzi n’ekisaanikira waggulu.Ebisenge by’enjjuki nabisiba mu kagoye akalimu omuzigo nensobola okusaanusa wax w’enjjuki.

Abalimi abasinga abennyigira mu kulunda enjjuki essira baliteeka ku mubisi nga ekifunwaamu naye  wax w’enjjuki yomu kubintu ebiyitirivu by’oyinza okufuna okuva mu kulunda enjjuki.

Wax w’enjjuki atambuzibwa mu bisenge by’enjjuki era okusobola okumugyamu,olina okusooka okubifumbira mu mazzi.Ebisenge by’enjjuki bisooka kuzingibwa mu kagoye akalimu omuzigo oluvannyuma nebiteekebwa mu mazzi agafumbibwa agali ku muliro .Webiba bijja,ebisenge by’enjjuki bimmenyeka olwo amazzi negafuuka ga kyenvu era nga galinga agalimu butto.
OKUWAKULA WAX W’ENJJUKI
Wax w’enjjuki wamala okusaanusibwa era nga tewakyali wax ava mu kagoye akalimu omuzigo,wax muyiwe mu mukebe ogwa plasitika era omuleke akwate.Wax ajja kulengejja wabula wemubaamu ebirala bijja kusigala wansi.
Kumutendera gunno,wax aba akyaddugala era abayetaaga okulongosebwa nga tanakozesebwa.
Mu kulongoosa wax,sooka omuggye mu mazzi amakyafu, ddamu omusaanuuse ng’omufumba emirundi ebiri olwo ebintu ebibaamu ebiteetagibwa oba obukyafu bidemu bisigalire wansi.
Okwongera okulongoosa wax w’enjjuki,wax musengejjere mu kasengejja wabula kozesa akasengejja akaakolebwa okola omulimu ogwo kubanga kizibu okulongoosa akasengejja okukaggyamu wax.
Wax waba alongoseddwa bulungi okusinzira ku kwagalakwo,osobola omuyiwa mu mukebe oba mu bukoppo obukoleddwa mu bipapula.
Eddagala erikolebbwa mu wax w’enjjuki.(BEE WAX POLISH)
Wax w’enjjuki omuyonjo  asobola okozesebwa ebintu ebiwerera ddala.Asobola okozesebwa okola eddagala erisiigibwa ku bibajje,akozesebwa mu pulojekiti z’okukola ebintu ebiva mu mbaawo,ebyuma n’ebirala bingi.
Okukola eddagala okuva mu  wax w’enjjuki, ddamu osaanuse wax ng’omufumba emirundi ebiri ng’otabula ebitundu binna ebya butto akoleddwa mu nsigo za flax seed mu kipimo kimu ekya wax.
Womala okubifumba nga byetabudde,biyiwe mu mukebe era obireke bikwate.Webimala okukwata,eddagala liba lituuse okozesebwa ebintu ebiwerako.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:15Osobola okusaanusa wax w'ennjjuki okuvva mu bisenge by'enjjuki obutereevu.
00:1600:47Zinga ebisenge by'enjjuki mu kagoye akalimu omuzigo
00:4801:10Bifumbe mu mazzi bisobole okumennyeka
01:1101:39Wax muyiwe mu mukebe ogwa plasitika era omuleke akwatte
01:4002:19Longoosa wax w'enjjuki ng'oddamu omusaanusa ng'omufumba emirundi ebiri
02:2003:34Wax omuyonjo alina emigaso mingi era asobola okukyusibwa n'afuuka olutabu olulongoosa.
03:3503:47Obujjulizi

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi