Okutondawo ebibira ebiseera ebisinga kutandika na ndokwa era okukula kwekibira kyonna okulungi kusinziira ku ngeri ennungi endokwa gye zisimbiddwamu n’endabirira.
Ebibira n’ettaka eririko emiti birina emiganyulo mingi kwekugamba biyamba okulongoosa empewo gye tussa, amazzi ge tunywa, bikola ng’amaka g’ebisolo by’omu nsiko n’okuyamba okukendeeza mukoka. Era bituwa ebifo by’okusanyukiramu n’ebyokubudamamu . Mu by’ensimbi, ebibira bivaako ssente okuyita mu kubifunako embaawo n’enku.
Okutondawo ekibira
Okutondawo kw’ekibira kulimu okusimba enkumi n’enkumi z’endokwaku ttaka eddene. Okusimba kwetaaga ebikozesebwa nga ekitiiyo, akuuma akakozesebwa okusimba (plug planter) akakozesebwa okusimba emiti gy’omu mikebe, enkumbi ne dibble bar.
Waliwo ebika by’endokwa bibiri ebisobola okusimbibwa. Bino bisobola okuba endokwa z’emirandira gyokka oba ez’omu mikebe. Engeri y’okusimba mu ndokwa zombi y’emu naye ekyawukana bwe buwanvu bw’ekinnya.
Ku ndokwa y’emirandira gy’okka, osimba okutuuka emirandira we gitandikira nga ky’ekitundu ekizimbyemu waggulu w’emirandira naye wansi w’ebikoola. Bw’ofuna endokwa ng’omukebe gubisse emirandira, gyako emikebe nga tonnasimba.
Ng’omaze okufuna endokwa, sooka ogikebere oba erina obukosefu.
Okusimbisa dibble bar
Fumita ddible bar mu ttakaera ogisike ng’ogizza emabega okole ekinnya ekyakula ng’ennukuta V mu ttaka. Teekamu endokwa omale obikke ekinnya olwo okozese ekigere kyo okutuuma ettaka okutuuka ku kifo emirandira we gitandikira oluvannyuma obikkeko.