Engeri y’okusimba ennyaanya n’okutangira okuvunda kw’ekibala ky’ennyaanya
Okuvunda kw’ekibala ky’ennyaanya kirwadde ekimanyiddwa ennyo mu nnyaanya era kino kisobola okutangirwa ng’okozesa enkola z’okulabirira ennungi.
Ng’osimba endokwa y’ennyaanya, sima ekinnya nga kiwanvu bulungi, salako ebikoola by’endokwa y’ennyaanya ebya wansi ng’osimba oleme ku biziikiramu ng’osimba ennyaanya wansi ddala. Okuziika ebikoola kyongera ku busobozi bw’ennyaanya okukosebwa ebitonde ebyonoona ebirime n’endwadde. Oluvannyuma lw’okusimba, obuviiri ku nduli y’ennyaanya bufuuka emirandira bwe bukwatagana n’ettaka era singa busimbibwa mu kinnya ekiwanvu obulungi, enduli efuna emirandira mingi era kino kisobozesa ennyaanya okufuna ebirungo bingi.
Ebikolebwa mu kulabirira
Teeka ku nnakavundira mu kinnya okukola ng’ekivaako ebirungo okuva ku ntandikwa.
Teekamu ku buwunga bw’ebisosonkole by’amagi mu kinnya okuwa ekiriisa ekigumya amagumba n’amannyo kisobole okuziyiza okuvunda kw’ekibala ky’ennyaanya.
Endokwa giggye mu mukebe gwayo ogiteeke mu kinnya wansi ddala nga bwekisoboka.
Bikka ekinnya era okakase nti ebikoola tebikoona ku ttaka okukendeeza ku kukwatiba obulwadde.
Ng’omaze okubikka ebinnya, teeka nnakavundira okwetooloola ekinnya era ettaka olibikke n’obukuta bw’embaawo okukola ng’ebibikka ennimiro.
Teekawo omuti okuliraana endokwa y’ennyaanya esimbiddwa okugisobozesa okulanda.