Ekirime kya sunflower kya tuunzi nnyo, kikulira nyo mubitundu ebirimu enkuba ey’ekigero wamu n’ebyo ebirimu akasana ebiyina ettaka eriddugavu erigimu era eritalegamya mazzi.
Butto w’ekirime kya sunflower alimu ekiriisa kingi. Ekirime kikungulwa langi yakyenvu ow’akakyungwa bwerabikira ku mitwe gy’ebimuli. Mukugattako, ebiseera by’omusana byebiseera ekirime kya sunflower mwekisinga okubalira ennyo. Mukw’eyongerayo okutandika famu y’ekirime kya sunflower kyangu nnyo. Naye singa kukozesa bigimusa eby’obutonde. Naye ate wewale okufukirira buli kiseera kubanga kino kiyinza okwongera kumikisa gy’okuwotoka wamu n’okuvunda kw’emirandira.
Ennima
Tandika nakufuna kifo ekirungi ekirina eyttaka egimu era eritalegamya mazzi ate nga omusana gutuukawo bulungi. Ate era nga tonasimba kabala bulungi era okozese ebigimusa. Oluvanyuma kozesa obungi bw’ebigimusa obulambikidwa mukiseera ekituufu oluvanyuma lw’okwekebeja ettaka. Mukugattako nyika ensigo mumazzi okumala esaawa 24 nga tonasimba okusobola okumera amangu era mukusimba gaba amabanga ga mita 0.6 wakati wenyiriri era ne mita 0.3 okuva kubuli kimera.
Okusiga n’okukungula
Kakasa nti nti osiga ensigo kubuwanvu bwa cm 45 okukirizisa ensigo okumera era ofukirire okusinziira era webale ebimera okufuna ekabiriro. Era buli kiseera tangira emiddo, ebitonde eby’onoona ebirime wamu n’enddwade era kungula nga ebikoola bikaze bulungi. Okukungula kuyina okukolebwa mubudde okusobola okw’ewala okufiirizibwa era kungula emirundi 2-3 okwewala okumansamansa empeke. N’ekisembayo yanika bulungi emitwe gyekirime kya sunflower kukasana.