Okulunda ebyenyanja kitegeza
Waliwo engeri biri enkulu mu kulunda ebyenyanja era nga zezino, okulundira mu mayanja oba ebidiba ebiri mu kitundu wamu n’enkola eyokulundira wafunda nga ebyenyanja bingi nga obiriisa emere endala.
Ebigobererwa mu kulunda
Tandika nga osima ekidibiba ky’ebyenyanja ekirungi. Bwomala londa obuyamba obulungi nga bukyali buto era ekidiba okijuzemu amazzi amayonjo nga temuli bikyafu okusinzira ku kikaky’ebyenjanja ekirundibwa.
Okugattako, kyalirako abalunzi b’ebyenyanja abatutumufu nga tonatandika mulimu gwa kulunda by’enyanja okusobola okufuna amagezi n’obukugu mu bulunzi bw’ebyenyanja. Era ebyenyanja biriise emere erina omutindo omulungi. Okwongerako bigatireko emere endala. Ekisembayo nonyereza ku mbeera y’akatale okutegera obulungi obwetavu bw’ebyenyanja mu kitundu kyo.