Engeri y’okutandikamu eddundiro y’ebyennyanja n’okufuna amagoba amangi

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=2EcEnPY8lVc

Ebbanga: 

00:03:22

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Business Ideas English
Enteekateeka ya bizinensi y'okulunda ebyennyanja mu India. Engeri y'okutandikamu eddundiro ly'ebyennyanja n'amagoba amangi ate nga otaddemu kitono. Okulundira ebyennyanja mu kidiba mutendera ku mutendera. Akatambi k'eddundiro ly'ebyennyanja mu India.

Okulunda ebyennyanja kulimu okukuliza ebyennyanja by’okutunda mu ttanka, ebidiba oba ebisaakaate ebirala okuvaamu emmere n’okukola ensimbi.

Mu nsi yonna mulimu ebika by’ebyennyanja eby’enjawulo ebirundibwa omuli ssemutundu, empuuta n’engege. Ebyennyanja biriisenga emmere erimu ebiriisa byonna ebyetaagisa nga vitamin, ebirungo n’omunnyo. Ekirala nga tonnatandikawo bizinensi y’eddundiro ly’ebyennyanja kakasa nti olonda ebika by’ebyennyanja ebirungi okuyamba okwongera amagoba okuva mu bizinensi eyo.
Eby’okuteeka mu nkola
Sooka olonde ekifo ky’okulundiramu eby’ennyanja era okole enteekateeka ennungi nga tonnateekawo ky’ogenda kulundiramu. Oluvannyuma, kakasa nti waliwo ebikozesebwa ebyetaagisa nga tonnazimba kidiba era kuuma ekidiba mu mbeera ennungi okusobozesa ebyennyanja okukula obulungi okwongera amagoba. Ekirala, ebyennyanja biriise emmere ejjudde ebiriisa okubikuuma nga biramu bulungi okwongera ku ky’ofunamu era fuba okukyusa amazzi mu kidiba oba amazzi gateekemu eddagala eriragiddwa wamu n’okukeberanga ku bulamu bw’ebyennyanja.
Enkola z’okulabirira 
Kuumanga ekidiba nga kiyonjo era nga kirungi okuyita mu kukebera amazzi buli kadde okusobozesa ebyennyanja okukula obulungi. Okwongerako, ekidiba kiteekeko eby’okwekuumisa okwewala ebirumba eby’ennyanja era ekisembayo, fuba okuggyanga eby’ennyanja ebikuze w’olundira mu budde obugere oluusi kumakya oba mu ttuntu, ebyennyanja ebiggiddwamu birina okuteekebwa ku katale amangu ddala.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:31Ebyennyanja birundibwa mu nsi yonna, bikola nga emmere, biwa ekiriisa ekizimba omubiri ku bbeeyi ennene era byetaagibwa nnyo.
00:3200:40Londa ekifo ky'okulundiramu ebyennyanja, kola enteekateeka ennungi era ozimbe ekifo ky'okulundiramu ebyennyanja.
00:4101:00Kakasa nti waliwo eby'okukozesa ebyetaagisa nga tonnazimba kidiba era kuumira ekidiba mu mbeera ennungi.
01:0101:21Londa ebika by'ebyennyanja ebirungi ebyetaagibwa ennyo ku bbeeyi ennene okugeza ssemutundu, empuuta n'engege.
01:2202:00Ebyennyanja biriise emmere erimu ebiriisa nga vitamin, ebirungo n'omunnyo.
02:0102:19Kyusanga amazzi g'ebyennyanja oba ogateekemu eddagala eriragiddwa era okeberenga ku bulamu bwabyo.
02:2002:35Kuuma ekidiba nga kiyonjo buli kadde era nga kirungi, keberanga amazzi g'ekidiba n'omutindo gw'ettaka era oteekewo obukuumi ku kidiba.
02:3603:22Kakasa nti ebyennyanja obiggyamu oluusi kumakya oba mu ttuntu era obiteeke mangu ku katale.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *