Okulima kw‘omubiyumba kwekusimba ebirime mubiyumba ebiserekeddwa n‘ebiveera okusobola okuyisa empewo.
Ky‘egulide erinnya mu kenya olw‘okubeera enkola ezza amagoba era yetanirwa nnyo kubanga enkola zaayo ez‘obulimi nyangu nnyo. Ebirime byemere ebirimibwa mu biyumba mulimu; cucumbers, kales, ennyaanya, capsicum, spinach wamu nenkenene era nga ennyaanya kyekirime ekikulu kubanga zimera bulungi mubiyumba kyebava bazetanira.
Obulimi bwe nnyaanya
Ekirime kyennyaanya kikula bulungi kumerezo nga ngulumivu wamu n‘okweyagalira mu mbeera zettaka eziwa amazzi muttaka awatali kulegama. Ettaka ejimu erijjude ebirungo bikulu nnyo kubanga biziyamba okuwanvuwa era n‘okunyirira nga zisobola okukula okutuusa kubuwanvu bwa mita biri.
Era wetagisaawo obukubo obutambulirwaamu bwa 30cm mumakati gemerezo.
Enteekateeka yemerezo
Emerezo zisooka kusimibwa era oluvanyuma ettaka nelitabulwa n‘ebigimusa oluvanyuma olinda okumala wiiki biri ebigimusa okusobola okubeera nga bikakanye era nebitabulwa nettaka era wamu n‘amazzi.
Okufukirira kukolebwa mubudde bw‘okumakya nga ebirime bisubirwa okumeruka oluvanyuma lwa nnaku munaana era amazzi gayina okugenda mumaaso okumala wiiki oba biri nga okusimbuliza tekunaba kukolebwa.
Endabirira esinga
Okusimbuliza kukolebwa wiiki emu oba biri oluvanyuma lw‘okumeruka okusobola okw‘ewala okufiirwa ebirime okuva mu kumenyeka kw‘enduli kubanga ziguma nga bwezeyongera okukula nga tezinaba kusimbulizibwa.
Ky‘amugaso nnyo okukakasa nti ekiyumba tekiriiko watonnya. Empiira zigalamizibwa kumerezo nga mulimu obutuli okukola nga okufukirila okw‘okutonyeza ekirime kye nnyaanya. Empiira zikozesebwa okw‘ewala okusamuka kw‘amazzi mukiseera ky‘okufukirira.