Obulunzi bw’enkoko ezenoonyeza emmere bizinensi nnungi era erimu ensiimbi.
Mu kwongerako,mu kutandiika bizinensi eno oyita mu mitendera myangu ennyo.
Mu kugattako, Obulunzi bunno bukendeeza ku nsaasannya y’ensimbi ku mmere kubanga enkoko zi zenonyeza mu nnimiro.Obulunzi bunno bufuna nnyo kubanga abaguzzi bagala nnyo enkoko ezirundibwa zitti okusinga enkoko z’ebiyumba.
Emitendera egiyitwamu ng’otandika obulunzi buno
Tandiika nakusalawo ku bunnene bwa faamu ng’osalawo ku bungi bw’ebinnyonyi byogenda okulunda,ekiffo nebogenda okuguza.
Era nonnyereza ku katale osobole okumannya abaguzi bo,ebbeeyi yebyo byonakungula,era owandiike byogenda ogoberera ng’otandika okuzimba faamu yo.
Mu kugattako,londa ebyetaagibwa okuli ettaka,ennyumba n’ebyokozesa.
Mu kwongerako,faamu giteeke mu kiffo ekiri okumpi n’akatale,awali obukuumi,abakozi abalayisi,awavva amazzi,n’awatambuza empewo obulungi.
Bulijjo londa ekiffo ekirimu ettaka erisobola okuwanirira amazzi era nga empewo yawo ng’etambula bbulungi era funna obukoko obutto okuva ku batunda abakakkasiddwa nga webuuza ku balunzi abalina obumannyirivu.
Kakkasa nti olonda ekikka ky’enkoko ekituufu nga wesigamba ku byoyagala.
Emmere y’enkoko gigatemu emmere erimu ebirungo era mu kusembyayo,funa abakozi okusinzira ku bunnene bwa faamu okusobola okwewala okusaasannya ennyo.