Okulunda enkoko nga zetaaya mulimu gukolebwa abalunzi bangi, okutandika okulunda enkoko ezitambula wabweru wetaaga obeere nawantu nga wagazi.
Ettaka ly’ofunye olina okulisiba olukomera otekemu ebisikirize. Ku mulyango, tekawo endagala eritta obuwuka abantu okulinyamu nga tebanayingira mu ddundiro. Kino kiyamba okukuuma enkoko okuva eri endwadde.
Ekiyumba ky’enkoko
Ekiyumba ky’enkoko kirina okuba nga kiyitamu amzzi bulungi singa enkuba eyamanyi ejja. Obukuta bw’emiti busobola okukozesebwa nga ebyokusulako. Kino kiyamba enkoko okutafuna buwuka, endwadde ate era nga kikuuma enkoko obutabeera mu kalimbwe.
Ekiyumba ky’enkoko kirina okuba nga tekiyingiza bitinde bisima okwewala emese okuyingira nga ziva wabweru. Enkoko oziwe ebbanga erimla okuzanya nokukuuma obuyonjo munda newabweru.
Okuliisa enkoko
Wewale okuteeka emere munda mu kiyumba, enkoko zirina okulisibwa wabweru. Enkoko zirina okubeera nekisikirize, wezizanyira nokuwula wamu nawantu wezitakula. Kozeesa akatiba omunywerwa nga kaliko omukonda okukwatibwa. Omuguwa gusibibwa ku katiba neguwanikibwa ku kintu amazzi negatayiika.
Akatiba k’emere nomunywerwa birina okuwanikibwako katono enkoko okusobola okulwa mu miremebe. Ebinyonyi by’omunsiko birina okugobebwa kubanga bitambuza endwadde.