»Engeri y‘okutandikawo faamu y‘enkoko ensesere/enkyayina– Ebirowooza bya bizinensi ebyetaaga entandikwa entono nga ate efuna amagoba mangi«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=cjmy8tDBrsg

Ebbanga: 

00:04:58

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Business Ideas English
»Engeri y‘okutandikawo faamu y‘enkoko ensesere/enkyayina. Ebirowooza bya bizinensi ebyetaaga entandikwa entono nga ate efuna amagoba mangi«

Olwokuba kirungi okuzisigamu sente, bwolunda enkoko enkyayina/ensesere omutindo n‘obungi bisinzira ku mutendera n‘ekika kya tekinologiya akozesebwa.

Enkoko ensesere olwokuba zimanyikibwa nnyo era nga kyekika ekyagalibwa enyo, kika kyabinyonyi ekisanyusa okutunulira kubanga bitunulirwannyo era biringa ebimuli. Zino zongera ku nyigiza eri abalunzi abazirunda.

Endabirira y‘enkoko

Nga otesetese bulungi wamu nokulabirira, okukuza enkoko ensesere kufunira ddala. Tandika nga ogula obukoko obwomutindo, obulamu era nga sibulwadde okutandika bizinensi enavaamu amagoba amangi. Zimba ekiyumba ekirungi nga osinzira ku sente zolina wamu n‘ebikozesebwa era kiyinza okuba ekyenkokoto oba ebintu ebirala nga amabanda.

.Mungeri yemu, tekako ebituli omuyita empewo nga bisaniide munda mu kiyumba okugyamu emikka emibi okukuuma ebinyonyi nga biramu era okukakasa nti ekitangala ekimala kiyingira okusobola okukirongoosa obulungi era ekiyumba okikazenga. Ziwe amabanga ga fuuti 10 ku 10 munda era oziriise emere eyomutindo okwongera ku nkula yazo wamu n‘enzaala ye‘enkoko. Enkoko toziriisanga emere enjama era ziwenga amazzi amayonjo.

Kuumira enkoko1 ku buli nkazi 10 okusobola okuzaala obulungi era okuume enkoko nga ziri wakalu kubanga ebyoya byazo biyitamu amazzi. Zigeme mu budde era obere nga olaba omusawo w‘ebisolo.

Ekisembayo tandika okunoonya akatale nga tonatandika kulunda.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:22Enkoko ensesere olwokuba zimanyikibwa nnyo era nga kyekika ekyagalibwa enyo.
00:2301:17Kika kyabinyonyi ekisanyusa okutunulira kubanga bitunulirwannyo era biringa ebimuli.
01:1802:05Tandika nga ogula obukoko obwomutindo, obulamu era nga sibulwaddeera ozimbe ekiyumba ekirungi
02:0602:45Tekako emiwatwa omuyita empewo nga gisaniide munda mu kiyumba era n‘okukakasa nti ekitangala ekimala kiyingira.
02:4603:32Ziwe amabanga agamala era oziriise emere eyomutindo.
03:3303:46Enkoko toziriisanga emere enjama.
03:4704:18Kuumira enkoko1 ku buli nkazi 10 era okuume enkoko nga ziri wakalu .
04:1904:35Zigeme mu budde era obere nga olaba omusawo w‘ebisolo.
04:3604:44Tandika okunoonya akatale nga tonatandika kulunda..
04:4504:58Mubufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *