Engeri y’okutangira akasaanyi akayitibwa fall armyworm nga okozesa eddagala eriyitibwa fawligen mu Lungereza (USA)

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=p9HIOO-Y_XU

Ebbanga: 

06:35:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

SAWBO™ Scientific Animation Without Borders
Olw'okuba ekiwuka eky'obulabe eri kasooli ekivaako okufuna amakungula amatono, akasaanyi ka fall armyworm kasobola okutangirwa nga omulimi akozesa eddagala lya fawligen. Nga ekiwuka ekikosa kasooli, akasaanyi ka fall armyworm kakula okuva ku magi, akasaanyi, namatimbo, ppaka bwe kikula era akasanyi ke kakosa ebirime. Omuntu alina okukebera obukosefu bw'akasaanyi kano mu kumera kw'ebirime n'afuuyira nga bukyasobola okutangirwa era ofuuyire ennimiro yonna bw'olaba akasaanyi kano ku birime 2 ku 10 nga okozesa eddagala eritta ebiwuka ebyonoona ebirime.
Okutangira ebiwuka ebyonoona ebirime
Nga emu ku nkola ez’enjawulo ez’okutangira ebiwuka ebyonoona ebirime, eddagala lya fawligen lireetera obusaanyi okulwala ne bufa. Wabula, ebyetaagisa okuteekateeka eddagala lya fawligen mulimu ekipima, amazzi, eby’okwekuumisa n’ebbomba.
Mu ngeri y’emu, omuntu yeetaaga ebbomba 4 ez’eddagala lya fawligen okufuuyira ennimiro ya mita 70*60. Yambala eby’okwekuumisa, teekamu amazzi amayonjo ga kitundu ky’ebbomba era onyeenye bulungi eccupa y’eddagala lya fawligen olwo opime 10ml ez’eddagala oyiwe mu bbomba omale ojjuze ebbomba n’amazzi omale osaanikire.
Ebikozesebwa okupima birongoose oluvannyuma lw’okubikozesa wabula si kumpi n’awantu awafunibwa amazzi era eddagala litabulire mu bbomba nga okozesa akapiira ppaka bwe lyetabula. Ebbomba gikwatire mu kifo kye kimu ofuuyire butereevu ku bisenge by’ebirime era ofuuyire okutuusa nga ebbomba ekalidde omale oyoze ebbomba n’ebyokwekuumisa.
Okwongerezaako, naaba engalo n’amazzi ne ssabbuuni era tokkiriza bantu kuyingira nnimiro ppaka nga likaze era ekisembayo ddamu olambule ennimiro oluvannyuma lwa wiiki emu era oddemu ofuuyire okumala wiiki 3-5.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:25Akasaanyi ka fall armyworm kiwuka ekikosa kasooli.
00:2600:32kakula okuva ku magi, akasaanyi, namatimbo ppaka bwe kikula
00:3300:36Akasanyi kakosa ebirime
00:3700:59kebera obukosefu bw'akasaanyi kano mu kumera kw'ebirime era ofuuyire mangu
01:0001:10Fuuyira ennimiro yonna bw'ozuula akasaanyi kano
01:1101:50Eddagala lya fawligen emu ku nkola ya IPM
01:5102:06 eddagala lya fawligen lireetera obusaanyi okulwala ne bufa
02:0702:18ebyetaagisa okuteekateeka eddagala lya fawligen mulimu eddagala lya fawligen, ekipima, amazzi
02:1902:25ebirala mulimu eby'okwekuumisa n'ebbomba.
02:2602:47Yambala eby'okwekuumisa, teekamu amazzi amayonjo ga kitundu ky'ebbomba
02:4803:01nyeenya bulungi eccupa y'eddagala lya fawligen, lipime omale oliteeke mu bbomba
03:0203:20ojjuza ebbomba n'amazzi omale osaanikire.
03:2103:29Ebikozesebwa okupima birongoose oluvannyuma lw'okubikozesa wabula si kumpi n'awantu awafunibwa amazzi
03:3003:54Tabula eddagala mu bbomba ofuuyire nga empewo si nnyingi
03:5504:21Ebbomba gikwatire mu kifo kye kimu ofuuyire butereevu ku bisenge by'ebikoola
04:2204:47ofuuyira okutuusa nga ebbomba ekalidde omale oyoze ebikozesebwa.
04:4804:58tokkiriza bantu kuyingira nnimiro ppaka nga likaze
04:5905:16ddamu olambule ennimiro oluvannyuma lwa wiiki emu era oddemu ofuuyire okumala wiiki 3-5.
05:1706:35Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *