Ekiyumba ky‘embuzi esobola okuba eya wansi oba eya waggulu.
Ebiyumba by‘embuzi ebya waggulu bya bbeeyi okusinga ku biyumba bya wansi olw‘obungi bw‘embaawo ezeetaagisibwa mu kubizimba. Singa omulunzi abeera alina emiti gye nga ate ebbeeyi yaagyo esse ku katale, kisngako okugkozesa okuzimba ekiyumba ky‘embuzi ekya waggulu okusinga okugitunda ku layisi.
Emigaso gy‘ebiyumba bya waggulu
Bw‘oba ozimba ekiyumba ky‘embuzi ekya waggulu, walina okubaawo amabanga agalekebwawo wakati w‘embaawo, okulekawo ebbanga eriwerako okusobozesa obusa n‘omusulo okuyita mu ttaka. Ebeera nsobi okuzimba ekiyumba ekya waggulu nga toleseewo mabanga mu ttaka kubanga awo ensonga ebizimbisa waggulu tejja kufunibwa.
Bw‘ozimba ekiyumba ky‘embuzi ekya waggulu, teweetaaga kukilongoosa buli lunaku ate era singa abakozi bo si balungi mu kulongoosa, kisingako n‘ozimba ekiyumba ekya waggulu.
By‘olina okuteekako essira ng‘ozimba ekiyumba ky‘embuzi ekya waggulu
Bwoba ozimba, kakasa nti embuzi zirina ekifo ekimala we ziyinza okwetaayiza.
Ekiyumba ky‘embuzi kirina okuba mita emu n‘ekitundu okuva ku ttaka nga ne ewabbali waggaddwa okuziyiza embuzi okugenda wansi w‘ekiyumba mu busa n‘omusulo. Bw‘olekawo mita emu n‘ekitundu okuva ku ttaka, kiwanvu ekimala okusobozesa omuntu okukkirira wansi n‘alongoosa.
Mu kiyumba ky‘embuzi ekya waggulu, osobola okwawulamu okiyumba ky‘obubuzi obuto n‘ebiyumba ebirala mu kasolya ke kamu. Osobola okukizimba nga kikozesebwa okufuuyira embuzi ez‘ebika byonna naye nga tezeegasse wamu.